NGA Vision Group ejaguza okuweza emyaka 40 kasooka etandikibwawo agikulira Don Innocent Wannyama, akoowodde abantu okujja obungi e Kololo mu kivvulu kya Makoma band .
Makoma nzaalwa y'e Congo naye nga bawangaalira Budaaki era nga bamaze emyaka egiwerako nga bayimba ennyimba ezitendereza omutonzi.
Wannyama, asiimye abantu abazze bawagira kampuni ya Vision Group nga balaba , okuwuliriza n'okusoma emikutu gyaffe, okutuwa ebirango, okutuwabula , n'okutubeererawo mu mbeera yonna.
Asanyukidde aba Band ya Makoma era n'abaagaliza ebikujjuko ebirungi n'akowoola Bannayuganda n'Abacongo abali muno, okuggweera mu kisaawe e Kololo.
Akulembeddemu Bandi eno, Natalia Makoma, ategeezezza nti, baasemba okujja muno emyaka 25 egiyise era ng'ekibakuumye nga b'amaanyi, kwe kuyimbira Katonda, okumutendereza n'okumussaamu obwesige olubeerera.
Tiketi ekuyingiza shs 50,000/ VIP 100,000/ abanaasasulira ku kisaawe, abasembayo ba shs 150,000/ ne VVIP ya shs. 250,000.
Mu kivvulu bakuwerekerwako abayimbi abaamuno okuli Paster Wilson Bugembe, Recheal K, Best Emilly , Brain Lubega n'abalala