Amawulire

Aba Uganda n'Eddagala Lyayo beemulugunyizza ku misolo

ABASAWO b'ekinnansi wamu n'abatunzi b'eddagala ery'ekiddugavu abeegattira mu kibiina kya Uganda n'eddagala lyayo bawakanyizza emisolo egitandise okubatekebwako mu nkola y'emirimu gyabwe.

Aba Uganda n'Eddagala Lyayo beemulugunyizza ku misolo
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

ABASAWO b'ekinnansi wamu n'abatunzi b'eddagala ery'ekiddugavu abeegattira mu kibiina kya Uganda n'eddagala lyayo bawakanyizza emisolo egitandise okubateekebwako mu nkola y'emirimu gyabwe.

Akulira ekibiina kino Ssaalongo Karim Walyabira yategeezezza nti bo nga abasawo b'ekinnansi mu kujjanjaba abalwadde bakozesa  mayembe , misambwa nampewo era nga n'amasabo gaabwe gabeera mabega w'amayumba so si ku mwanjo n'olwekyo sikyabwenkanya kutandika kubabinika misolo .

Okwogera bino kyaddiridde okutandika okufuna okwemulugunya mu basawo e Luweero nga bano balumiriza nti abakulembeze ku disitulikitti y'omu kitundu kino batandise okubasaba emisolo nga gino gitandikira ku mitwalo (20) okudda waggulu okusinziira ku buli omu ky'akola .

Abasawo bino babiroopedde omukwanaganya omukulu owa pulezidenti ku nsonga za Buganda Joseph Sewava bweyabadde abasisinkanye ku ofiisi zaabwe e Kasubi.

Mu kubaanukula Sewava yategeezezza nti okwemulugunya kwabwe waakukutuusa butereevu ewa Pulezidenti Museveni nti era waliwo n'enteekateka eya Pulezidenti okusisinkana abasawo b'ekinnansi.

Yabakalaatidde mu nkola y'emirimu gyabwe okwewala ebikolwa eby'obumenyi bw'amateeka gamba nga okusaddaaka abantu n'abakubiriza bongere n'okwenyigira mu nteekateeka za gavumenti ez'okwekulaakulanya mu kaweefube ow'okwegobako nnawookeera w'obwavu .