ABEDDIRA Endiga bajjukidde nga bwegiweze emyaka ebiri bukya eyali omukulu w’ekika kino Ying. Daniel Bbosa akubwa amasasi agaamuggya mu bulamu bwensi nga February 25,2024.
Omukolo gw’okumusaba n’okujjukira ebirungi byeyakola gwabadde ku ofiisi y’ekika kino esangibwa e Mmengo okuliraana ennyanja ya Kabaka ku Lwomukaaga nga kwakulembeddwamu Fr. Claudius Ssegonja Ssaava ow'ekigo kye Nakawuka akubiriza abantu okuwangayo akadde okusabiranga abantu baabwe abaava mu bulamu bwensi.
“Kyannaku okulaba nga mu bantu evaayo abalala ne babeera ba muntunsolo. Si kunyigiriza bulamu bw’abalala naye n’okubuggyawo. Okusookera ddala Katonda ayagala nnyo abagenzi okusinga abalala, ensonga eri emu, tebakyayonoona,” Fr. Ssegonja bweyayogedde ku kikolwa ky’okuggyawo obulamu bw’omugenzi.

Okusabira omugenzi Lwomwa
Okuwonga omugenzi eri Omutonzi kwabadde mu lukiiko lw’ekika olw’omwezi gw’okusatu nga lwetabiddwamu Omukulu w’ekika kino aliko, Omutaka Eria Buzaabo Lwasi eyabadde n’Omukulu w’ekika ky’e Kinyomo, Omutaka Nakigoye Samson Nabbimba eyabadde omugenyi ow’enjawulo.
Nakigoye yayogedde ku mugenzi ng’eyakwanaganya obuwangwa n’eddiini (yali Mulokole) byonna n’abikolera wamu; n’ayagala ekika kye ate n’eggwanga lye.
“Ffe Abataka tetwagala nnyo enzikkiriza y’ekirokole kubanga erina engeri gyenafunayamu obuwangwa bwaffe. Ate ye yali mulokole ate Omutaka. Ye yali akitegeera naye nga Abapentecote abamu batuvumirira okukamala batulaba nga sitaani naye ng’ate tuli bantu babuvunanyizibwa,” Omutaka Nakigoye bweyayogedde.

Omutaka Lwomwa
Okuttibwa kwa Ying. Bbosa kwaleeta entiisa mu Bannayuganda bweyakubwa amasasi asatu mu bitundu by’omutwe n’ekifuba bweyali mu mmotoka ye ng’akyaama mu maka ge agasangibwa mu zooni y’e Kikandwa e Lungujja- Lubaga mu Kampala ku ssaawa 12 ez’olweggulo.
Obumu, okwagalana n’okuliziganya by’ebimu ku bigambo Ying. Bbosa byeyakuutiranga bazzukkulu be era Omutaka Lwasi ng’omugenzi weyafiira yeyali Katikkiro we, yeyamye okutambulira ku nsonga zino.
Aba Famire ya Ying. Bbosa beetabye ku mukolo guno nga baakulembeddwamu omusika wa Taata wa Ying. Bbosa, Richard Kiyingi Bbosa, mwanyina Pheobe Nakibuuka nebeebaza ab'endiga olw’okusalawo okutegekanga okusaba kw’okujjukiranga omugenzi mu mwezi ogw’okusatu buli mwaka.

Okusabira omugenzi Lwomwa
Christopher Kalyesubula nga ye Katikkiro w’ekika ky’endiga yayogedde kweebyo byajjukira ku mugenzi okuli okubakuutira okukola obuteebalira nga mwebanaggya ssente okwegobako obwavu kubanga tewandibadde wa ndiga mwaavu.
Ying. Bbosa nga ye Lwomwa owe 17 yatandika okukulembera ekika ky’endiga mu 2007 okutuusa weyafiira. Luggya Tabula eyakulemberamu olukwe okumukuba amasasi, ali ku meere e Luzira.