Amawulire

Minisita Nabakooba akunze abakyala ku pulogulaamu za Gavt.

Ate minisita w’ettaka, amayumba n’enkulaakulana y’ebibuga, Judith Nabakooba atongozza enteekateeka y’ekibiina ky’abakyala Abasodokisi mu Uganda n’okusaba bagiyingize mu Pulogulamu za Gavumenti ez’enkulaakulana.

Ssaabasumba Metropolitan Jeronymos Muzeeyi ( owookusatu ku kkono) nga yeegasse ku Minisita Nabakooba (owookusatuku ddyo), Minisita w’enkulakulana y’abantu ba Buganda, Choltilda Nakate Kikomeko ( owook
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

Ate minisita w’ettaka, amayumba n’enkulaakulana y’ebibuga, Judith Nabakooba atongozza enteekateeka y’ekibiina ky’abakyala Abasodokisi mu Uganda n’okusaba bagiyingize mu Pulogulamu za Gavumenti ez’enkulaakulana.
Nabakooba yagambye nti enteekateeka eno nnungi kubanga ekwata ku bintu byonna eby’obulamu bw’omukyala nga waliwo emikutu mingi mu gavumenti mwe bayinza okuyita
okugiganyulwamu ng’eteereddwa mu nkola. Okutongoza kuno kwabadde ku mukolo gw’okusaba ogw’abakyala abakkiririza mu Kristo ogwategekeddwa ku Lutikko y’Abasodokisi e Namungoona ku Lwokutaano. Gwetabiddwaamu abakyala okuva mu nzikiriza okuli Abasodokisi, Abakatoliki n’Abakristaayo.
Yakubirizza abakyala okujjumbira enteekateeka za gavumenti nga PDM, Pulojekiti ya Grow n’endala okwekulaakulanya nga bassekinnoomun n’okuyitira mu nzikiriza
zaabwe. Ssaabasumba w’Eklesia y’Abasodokisi mu ggwanga, Metropolitan eronymos Muzeeyi yasabye abakyala okwongera okubunyisa enjiri ya Yesu nga batandikira mu
maka. Minisita w’enkulaakulana y’Abantu ba Buganda ne Ofiisi ya Nnaabagereka, Choltilda Nakate Kikomeko yeeyamye nti Obwakabaka
bwakutambulira wamu n’abakyala bano okulaba nga Nnamutayiika atambulira wamu n’oyo ow’Obwakabaka okuzimba abakyala.
Pulezidenti w’Abakyala Abasodokisi mu ggwanga, Proscovia Matovu agambye nti olunaku luno lukulu kubanga luleeta Abakyala bonna wamu era ne beegayirira Katonda ku lw’eggwanga, enzikiriza zaabwe ate n’amaka bitambule bulungi.