Amawulire

Munnamateeka amateeka gamugobye mu kizimbe

KKAMPUNI ya munnamateeka Fred Muwema eya Muwema & Co Advocates egobeddwa ku kifuba mu kizimbe mw’ebadde epangisa, e Kololo ku luguudo lwa Windsor Cresent, oluvannyuma lwa kkooti okulagira Muwema okwamuka ekizimbe kino, ate asasule bannannyini kyo ssente akawumbi kalamba n’obukadde 400.

Munnamateeka amateeka gamugobye mu kizimbe
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

KKAMPUNI ya munnamateeka Fred Muwema eya Muwema & Co Advocates egobeddwa ku kifuba mu kizimbe mw’ebadde epangisa, e Kololo ku luguudo lwa Windsor Cresent, oluvannyuma lwa kkooti okulagira Muwema okwamuka ekizimbe kino, ate asasule bannannyini kyo ssente akawumbi kalamba n’obukadde 400.
Bawannyondo ba kkooti nga bayambibwako Poliisi ne kkampuni y’obwannannyini enkuumi, baazinzeeko ofiisi za Muwema ne bayingira ku kifuba, ne bafulumya ebintu byonna ebya ofiisi ebweru, nga bakolera ku nsala ya kkooti.
Kinajjukirwa nti, nga February 20, 2026, kkooti enkulu mu Kampala, mu nsala y’omulamuzi Patricia Mutesi, yalagira Muwema ne kkampuni ye okusasula akawumbi kalamba n’obukadde 400 gattako n’okwamuka ekizimbe okuli ofiisi ze.
Omusango guno Muwema azze agulumba nagwo okuva 2023 nga gwamuwawaabirwa kkampuni ya Downtown Investments oluvannyuma lw’okulemererwa okugoberera amateeka ku liizi ey’emyaka etaano gye yafuna ku kuzimbe. Muwema yawawaabirwa ne kkampuni eya Muwema & Co Advocates ne Looya Friday Kagoro.
Okusinziira ku ndagaano ne bannanyini kizimbe, Muwema ne banne baalina okusasulanga doola 5,000 buli mwezi mu za wano ze 17,500,000/- wamu n’omusolo ogumanyiddwa nga VAT okumala ekiseera ekigere, ekitaakolebwa. Kkooti yakkaanya ne Down Town Investments, era
n’eragira Muwema ne kkampuni ye okusasula ddoola 148,300 (eza Uganda obukadde nga 534) zaataasasula nga za bupangisa, kw’ossa ddoola 224,000 (obukadde nga 800) ez’amagoba wamu n’obukadde 50 obw’okutereeza ebyayonooneka ng’awamu ke kawumbi kamu n’obukadde 400.
Mu kiwandiiko ekyafulumiziddwa kkampuni ya Muwema, baategeezezza bakasitoma baabwe nti, mu kiseera kino tebalina ofiisi, era mu nnaku ntono bajja kuba bababuulira ekifo ekipya gye bazze. Wabula beemulugunyizza ku ngeri gye baagobeddwa mu kiseera ekikkirizibwa mu mateeka