OMUKULU w’ekika ky’e Kinyomo, Omutaka Samson Nabbimba Nakigoye atenderezza ekika ky’endiga olw’okwolesa obuyiiya bwekireese enteekateeka bbiri okuli okuwandiisa abazzukkulu okumanya omuwendo gwabwe ate n’enkola egenda okuggya obweyamo Obwakabaka buli mwaka okuva ku buli muzzukkulu okukulakulanya ekika.
Endagamuntu y'ekika ky'Endiga
Enteekateeka y’okuwandiisa abazzukkulu egendereddwamu okumanya obungi bwabwe mu nsi yonna, okubateekerateekera ate nabo okubakunga okwenyigira mu nteekateeka z'okukulakulanya ekika.
"Ekiseera kituuse ebika okuyiiya ennyo tubeewo n'enkola esitula ebika byaffe. Mu bika tubadde n'endowooza egamba nti waliwo omuntu agenda okujja atukwatireko mu nkulakulana naye enkola gyensanze wano, akakasizza byendowooza," Omutaka Nakigoye bweyasiimye ekika ky'endiga.
Enkola zino ebiri, Nakigoye Nabbimba yazitongoza ng'asinzira mu Lukiiko lw'ekika ky'endiga olw'omwezi ogw'okusatu olwatudde ku ofiisi z'ekika kino ezisangibwa e Mmengo okukuliraana ennyanja ya Kabaka ku Lwomukaaga March, 7,2026.
Nakigoye yeebazizza obukulembeze bw'ekika kino olw'okulinyisa Omutindo ogwa buli kyebakola nga kiriko bulandingi ennungi egyayo ekika byekyagala okukola.
Omukulu w'ekika ky'endiga, Omutaka Lwomwa Eria Buzaabo Lwasi agamba nti okwewandiisa kuno baanukula ekiragiro Kya Kabaka Mutebi II kyeyawa emyaka nga mukaaga emabega.
Ekika kyategese ekiwandiiko eziriko Kalonda yenna akwata ku buli muzzukkulu okuli ebiraga essiga, Omutuba, Olunyiriri, Oluggya, Enju, ekitundu gyabeera, obuyigirize, omulimu n'ebirala ng'oluvanyuma wakuweebwa Kaadi efunirwa ku 10,000/-.
" Kabaka yawa ebika ekiragiro emyaka mingi egiyise era kyetugenderera okuteeka mu nkola. Tugenze okulaba nga tulina okunoonya abazzukkulu. Olumu tufuna abazzukkulu abatamanyi bikwata ku Kika kyaabwe. Kaadi ejja kuyamba mu bintu bingi ekika ate n'omuzzukkulu," Lwomwa Lwasi bweyanyonyodde.
Ku nteekateeka y'obweyamo bwa buli Muzzukkulu, Lwomwa Lwasi yabasabye okulaba buli mwaka bafisizaawo ekika ku nsimbi nga bwebakola eri eddiini zaabwe n'asuubiza okwolesa obweruufu obw'ekika ekya waggulu.

Omukungu w'ekika ky'Endiga ng'alaga endagamuntu
"Obweyamo si bwa buwazze, oli asobola okuwaayo ssente zonna zaasobola okuwaayo eri ekika mu bbanga lya Mwaka Mulamba. Buli anawaayo ssente ajja kuweebwa lisiiti eraga okuwaayo kwakoze. Tusuubira nti enteekateeka eno nayo ejja kutuyamba okufuna ssente okwekulakulanya," Lwomwa Lwasi bweyalambuludde.
Ye Katikkiro w’ekika ky’endiga, Christopher Kalyesubula yagambye nti ng'ekika batunulidde nnyo enkulakulana ey'ebiti eby'enjawulo okuli okukunga abazzukkulu okwenyigira mu by’obulimi omuva ssente naddala okulimira awafunda.
Okutuukiriza ekyo, ekika kyaleese Harriet Nakabaale Omukugu mu kulimira awafunda, abangule abazzukkulu ku ngeri enyangu gyebasobola okuyitamu okufuna mu kulimira awafunda okuli okuwonya amaka okusasanya ensimbi ku bintu ebitono ng’enva endiirwa ate n’ebirungo ebiteekebwa mu nva.
Wano ku ofiisi z'ekika Nakabaale ataddewo ennimiro ezirimirwako enva endiirwa n'ebirungo ate n'ategekawo olusuku lw'ebitooke 20 ng'abazzukulu kwebagenda okuyigira