Omuduumizi w'ekitongole ky'amakomera mu ggwanga, Dr. Johnson Byabashaija, ataddewo obukadde 10 eri oyo anaabawa amawulire agaakwatagana ku muserikale w'ekitongole kino, agambibwa okukuba abantu baana amasasi agaabatta e Kiboga.
Yasuulawo emmundu n'ebyambalo n'abulawo era ng'okuva olwo, bamunoonya. Omwogezi w'ekitongole ky'amakomera mu ggwanga, Frank Baine, agambye nti bataddewo ekirabo kya bukadde 10 eri oyo abeera amulabye nga bategeeza, aboobuyinza.