Amawulire

Amagye geeganye eby'okuwenja Bobi Wine

AMAGYE gavuddeyo ne gawakanya ebibadde bitambula nti ebikwekweto bye bakola ku nguudo za Kampala bigendereddwaamu kuwenja Pulezidenti wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu, ali mu kwekweka okuva akalulu ka bonna lwe Kaggwa mu January.

Amagye geeganye eby'okuwenja Bobi Wine
By: Lawrence Kizito, Journalists @New Vision

AMAGYE gavuddeyo ne gawakanya ebibadde bitambula nti ebikwekweto bye bakola ku nguudo za Kampala bigendereddwaamu kuwenja Pulezidenti wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu, ali mu kwekweka okuva akalulu ka bonna lwe Kaggwa mu January.

 

Eggulo enguudo ezifuluma n’okuyingira Kampala, zaabaddeko emisanvu egisuuliddwaako amagye ne Poliisi, era nga baliko emmotoka ze bayimiriza nga bwe bazeekebejja, ekyaleetedde amawulire okusaasaana nti banoonya Kyagulanyi.

 

Ne Kyagulanyi yennyini ng’ayita ku mukutu gwe ogwa X, yavumiridde ebikwekweto bino, n’agamba nti gavumenti eyaliko mu nsiko yandibadde ekimanyi nti tesobola kukwata muntu abantu gwe basazeewo okukweka.

 

Kato akola nga omwogezi w’amagye Col. Chris Magezi avuddeyo n’afulumya ekiwandiiko, n’agamba nti ebikwekweto byabwe bigendereddwaamu kutereeza ntambula ku nguudo za Uganda, okulaba ng’abagoba b’ebidduka bagondera amateeka g’oku nguudo.

 

Era emotoka ezitaliiko nnamba, ezirina ennamba enjingirire, ezirimu obugombe obukanga abantu ku makubo nga balowooza waliwo omukungu ayitawo, n’abamenya amateeka abalala ku nguudo bali mu kukwatibwa, okusobola okuzza obutebenkevu ku nguudo.

 

Eby’okuwenja Kyagulanyi yagambye nti si bituufu, era teri amunoonya, kubanga tebalina kye bamwagaza ng’abeebyokwerinda.

 

Okuva akalulu bwe Kaggwa, Kyagulanyi ali mu kwekweka, ng’agamba nti yagwa mu lukwe lwa gavumenti okwagala okumukwata bamuggalire, kwe kusalawo okugira nga yeekwese.

 

Abavuzi b’ebidduka Magezi yabasabye okukolagana obulungi n’abeebyokwerinda, omuli Poliisi n’amagye, okusobola okutereeza ebyentambula ku nguudo za Uganda.

Tags:
Amawulire
Bobiwine
Magye
Kugaana
Kuwakana
Kuwenja
Kunoonya
Bobi