Aba Buddo SS Bakyazizza Olukungaana Lwa ‘Pro-Life’ Ssabasumba Ssemogerere N’abasiima
Engeri Abayizi ba Buddo SS Gyebaanyumisizzaamu Olukungaana lwa “Pro-life’
Ggwe wamma ky’abadde kibigiya kyennyini, essomero lya Buddo SS (erisangibwa mu Kyengera Town Council, Wakiso district) bweryabadde likyaza olukungaana lw’ekibiina kya Uganda Martyrs Pro-life Apostolate, ekiyamba abayizi n’abavubuka okutegeera omugaso gw’obulamu, n’ekitiibwa ky’omuntu.

Abayizi nga basanyusa abantu
Olukungaana luno lwabaddewo ku Lwamukaaga nga March 7 (2026). Lw’akungaanyizza ebikumi n’ebikumi by’abayizi abaavudde mumasomero ga ssiniya, n’am’atendekero ag’awaggulu agali ku musingi gwa Klezia Katolika, agaasusse mu 20.
Mmisa y’akulembeddwa Ssabasumba w’essaza ekkulu ery’e Kampala, Paulo Ssemogerere, ng’ali wamu ne Bwanamuluku w’ekigo ky’e Kasenge, Fr. Stephen Mayanja, Fr. John Mary Kibirige asomesa mu St. Mbaaga’s Major Seminary Ggaba, Fr. Viatory Muvunyi, ne Fr. Vianney Ssekalaala.
Ssabasumba y’asiimye nnyo omukulu w’essomero lya Buddo SS, Lawrence Muwonge, n’ebakola nabo, olw’okutegeka obulungi olukungaana lwa nerubeera kumutindo. Y’amusiimye n’olwokutandika essomero lino, n’okuliikulaakulanya, ate n’okusomesa obulungi abayizi eby’amagezi, empisa ennungi ez’obugunjufu, ate n’okutumbula ebitone byabwe, okusingira ddala muby’emizannyo, n’okuyimba.

Ssaabasumba ng'ali n'abayizi
Abayizi abeetabye mulukungaana y’abakubirizza okutegeera obulungi omugaso gw’obulamu Katonda bweyabawa, n’okubussaamu ekitiibwa. Y’abakubirizza okwewala emize emibi, nga okujjamu embuto, n’obuseegu, gyeyagambye nti gyimalawo obulamu, n’okutyoboola ekitiibwa ky’omuntu, Yasiimye abo bonna abayamba okutaasa obulamu, omuli ba taata neba maama abalungi, n’abasawo.
Fr. Vianney Ssekalaala eyawadde omusomo, y’asabye abayizi bulijjo okukolanga okusalawo okutuufu, nebwekuba nga kukalubamu. Y’abalabudde kukabi akali mu kukozesa obubi omutimbagano gwa Yintaneeti, emikutu gyimugatta bantu (social media), gyeyagambye nti abantu abamu bagyikozesa okusaasaanya n’okuyigiriza abantu, n’addala abaana n’abavubuka obuseegu, n’obutassa kitiibwa mubulamu. Yabasabye tekinolgiya bamweyambise okuyiga ebibagasa. Yabasabye okufuna emikwano emirungi, n’okubaako kyebakola buli kadde, kubanga omuntu atalina byakola aba kiggwa kya Sitaani.
Omukulu w’essomero lya Buddo SS, Lawrence Muwonge y’eebazizza Ssabasumba Ssemogerere okuwa essomero lino omukisa gw’okutegeka olukungaana luno.

Abaana nga bayimba
Abayizi ba Buddo SS Bacamudde Bannaabwe
Abeetabye kumukolo guno baasiimye nnyo abayizi ba Buddo SS, abaayimbye obulungi mu mmisa, ate oluvannyuma nebabasanyusa nennyima ennyuunyuutivu, omwabadde neziwanna Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi, n’Obwakabaka bwa Buganda.
Amasomero Gasiimiddwa
Akola nga Dayirekita wa Pro-life, Josephine Kagogwe (eyakiikiridde Dr. Sandra Nabachwa) y’alangiridde Kyambogo University ng’ettendekero eryasinze amalala okukola obulungi. Ate mu masomero ga ssiniya, Cardinal Wamala Vocational School Bulo lyeryasinze. Amasomero/amatendekero amalala agaakize gannaago kw’abaddeko Uganda Martyrs University, University of Kisubi, St. Mbaaga’s Major Seminary Ggaba, St. John’s SS Muduuma, ne St. Thomas Aquinas SS Jjinja Karooli.
Olukungaana lw’atambulidde kumulamwa ogugammba nti: “Ffe ababatize, twettanire obutukuvu, ate tusambajje eby’obuseegu.”