POLIISI n'amagye, beeweze okugenda mu maaso n'ebikwekweto, okufuuza abanywi b'enjaga, ababbira mu jjaamu n'abo bonna abeenyigira mu bumenyi bw'amateeka.
Mu kiro ekyakeesezza eggulo, abantu 150 be baayooleddwa mu bikwekweto ebikoleddwa e Kajjansi, Kira diviizoni, Wandegeya, Kakiri, Matugga, Kira Rd ne mu Kampala wakati.
Ebimu ku bisangiddwa n'abakwate, mulimu enjaga, Obwambe, kkaada za matatu, n'ebyuma ebyeyambisibwa mu kumenya amayumba.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Owoyesigyire, agambye nti, baakufeffettera ddala abo bonna abakyamu, batwalibwe mu kkooti.