BANNALUWEERO baguddemu ekiyongobero oluvannyuma lw'okufuna amawulire g'okufa kwa ssentebe w'abakinjaagi mu disitulikiti eno.
William Ntege 56, abadde omutuuze mu Kasoma zzoonie mu kibuga Luweero yafudde kibwatukira era omulambo gwe gwasangiddwa mu kitaba ky'omusaayi mu maka ge.

Omugenzi bw'abadde afaanana
Emirimu gy’asannyaladde mu katale ka Luweero Central market omugenzi gy’abadde akolera bakozi banne, abasuubuzi mu katale kano n'abatuuze bwe bazze mu bukUukuulu nga beEbuuza ekyasse omugenzi Ntege eyayawukanye nabo nga talina kimuluma.
Omwogezi wa poliisi mu Savanna ASP Sam Twineamazima ategeezezza nti omulambo gwabadde ku buliri nga gutunudde waggulu nga guvaamu omusaayi mu nnyindo.
Ategeezezza nti okusinziira ku b'enganda omugenzi abadde atawaanyizibwa obulwadde bwa ‘pressure’ oba hypertension ne ulcers.
Poliisi yatutte omusaayi okunoonyereza ate omulambo n'egutwala mu ggwanika e Kasana okwongera okugwekebejja.