ABAAKWASIBWA omulimu gw’okuyonja ebitundu by’ekibuga Kampala eby’enjawulo aba 7 Hills, bekokodde abantu abajjuza kasasiro ne kazambi mu myala nti bebagiviiriddeko okuzibikira n’okweyongera kw’amazzi aganjaala mukibuga olw’okubulwa wegayita.
Bano babadde betabye mu bulungibwansi eyategekeddwa mu Mutungo zooni 8, mwebaayonjerezza ekitundu kyonna nga bagogola emyala n’okuggya kasasiro yenna mu bantu.

Aba 7Hills nga bagogola emyala e Mutungo
Edith Nansubuga om uku bakola omulimu guno ategezeza nga bwebasanze nga obucaafu bungi mukitundu nga obuzibu obusinga buva ku bantu abatefiirayo ku nkwata ya kasasiro wabwe nga balinda obudde nebuziba nebamujjuza mu myala.
Ekyewunyisa abantu bennyini abamujjuza mu myala ate bemulugunya nti amazzi gabakuba kyokka nga obuzibu buva ku bo, Nansubuga bw’ategezezza.
Asabye ab’ekitongole kya KCCA n’abaddukanya ekibuga okuttukiza okukwasisa amateeka kubanga kino kigenda kwongera okuvaako endwadde eziva ku bucaafu.
Norman Ssegawa, alaze okutya nti singa embeera eno eneyongera okubaawo kijja kureetera abatuuze okubulwa n’amakubo webayita naddala nga enkuba etonnye kubanga enguudo zibeera zanjadde amazzi.

Aba 7Hills nga bagogola emyala e Mutungo
Kansala w’ekitundu kino, Muhammad Muwanika kino akitadde ku kampuni ezaawebwa omulimu gw’okuggya kasasiro mu bantu nti tezirina nnaku ntongole kwezinonera kasasiro nga n’oluusi bwebaba bazze ate bamulekayo.
Ategezezza nga bwewaliwo n’ekkubo erisuubira okuyisibwa mu kitundu kino nga lino likandaalirizza okudabiriza kw’emyala gino kubanga bayinza okuba nga baakagidaabiriza ate negimenyebwa olw’ekkubo eriyitawo.
Asabye KCCA okwogera amaanyi mu kampuni ezaweebwa omulimu gw’okuggya kasasiro mu bantu bamunone mu budde bategeeze n’abantu ddi lwebanaamunona abantu basobole okumutegeka atwalibwe