Amawulire

omwana eyava ku ssomero n'agenda awaka wa mukwano gwe gy'abadde ennaku ttaano ng'abazadde bamunoonya poliisi emuzudde

Byabaddewo ku Lwokuna lwa wiiki ewedde, omwana Afra Wewombesa asoma P4 ku North Road P/S e Mbale, bwe babatadde okuva ku ssomero kyokka n'agenda ne munne Recheal Akello ewaabwe

omwana eyava ku ssomero n'agenda awaka wa mukwano gwe gy'abadde ennaku ttaano ng'abazadde bamunoonya poliisi emuzudde
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

Wabaddewo akasattiro mu bazadde, omwana bw'avudde ku ssomero n'agenda ne munne awaka gy'amaze ennaku ttaano nga poliisi emunoonya.

Byabaddewo ku Lwokuna lwa wiiki ewedde, omwana Afra Wewombesa asoma P4 ku North Road P/S e Mbale, bwe babatadde okuva ku ssomero kyokka n'agenda ne munne Recheal Akello ewaabwe

(Video eraga bazadde b'omwana nga balabye ku mwana waabwe)

Bazadde ba Afra, baakanze kulinda nga tebamulabako ne bagenda ku ssomero nga nayo buteereere , ensonga kwe kuzikwasa poliisi n'etandika omuyiggo.

Kitegeezeddwa nti leero ku makya, Afra akomyewo ku ssomero ng'ali ne mukwano gwe era muyizi munne Akello era ne bannyonnyola abasomesa nga bwe babadde bombi ewaabwe awaka.

Omwogezi wa poliisi e Mbale, Rogers Taitika, anenyezza abazadde ba Akello ababadde n'omwana ono okumala ennaku ttaano nga tebanoonyezza bazadde be wadde okutegeeza ab'essomero wadde poliisi.

Agasseeko nti babayise ku poliisi e Mbale okubaggyako sitatimenti babeeko bye bannyonnyola.

Tags:
Amawulire
Mukwano
Mwana
Ssomero
Nnaku ttaano