OMULABIRIZI Hannington Mutebi owa Kampala eyawummula abuuliridde Abakristaayo okwegyamu eby’amasanyu g’ensi ebitagasa omutima gwabwe baguwe Yesu atayiwa era beegayire Katonda mu kisiibo kino abawe Omwoyo Omutukuvu abalugamye.
Bino yabyogeredde ku kkanisa ya St Johns Kawuku ng’abuulira Abakristaayo mu kusaba okwabaddemu n’okuteekako abaana 24 emikono ng’okusaba kuno kwetabiddwako abaweereza abenjawulo okwabadde Ven Geoffrey Wilson Kakooza ssabadinkoni w’e Luzira ,Rev. Alex Kyobe omusumba we Kansanga ,Rev Fredrick Mubiru omusumba w’obusumba bw’e Kawuku, Ordnard Abel Ssentamu, Omubuulizi Sserumpanise awamu n’Abakristaayo