ABATUUZE BOMU Kimwanyi zooni I mu Katanga e Wandegeya basabye ekitongole kya KCCA okubazimbira kabuyonjo ezólukale kuba ezirimu tezisobola kuwanirira omuwendo gw'abantu ababeeramu.
Bano bagamba nti ekitundu kino kimu kabuyonjo ezólukale ntono nnyo ate nga zakusasulira songa abatuuze ababeramu mwebagenda ate nga amayumba agasinga tegali a kabuyonjo.

Dr Sarah nga bamunnyonnyola
Dirisa Nsimbe alabirira kabuyonjo emu eyólukale mu Kimwanyi zooni yagambye nti kabuyonjo kwakola ekozesebwa abantu abali wakati we 450 ne 500 nga bangi nnyo era buli agikozesa nga basasula 200/= buli muntu okuggyako abaana nábakadde.
Yagambye nti kabuyonjo gyalabirira ekibiina kyóbwanakyeewa ekya Concern kyekabakwasizaako okugizimba wabula nga omuwendo gwababagikozesa gweyongedde nga ekitundu kyegangisa kabuyonjo endala.
Fred Isabirye akulira ebyókwerinda mu Kimwanyi zooni yagambye nti ngóggyeeko Kabyonjo okubeera entono kuba okuzimba bayambiddwako ebibiina byóbwanakyeewa wabula bakyalina ekizibu ekirala ekya kazambi akulukuta nagwera mu mifulejje songa balina abaana abato abayinza okugwamu nókuzanyira mu bikyaafu.

Dr Sarah nga bamulambuza ebifo ebicaafu mu Katanga
Hadijjah Nabukenya yagambye nti abantu abasing bagenda mu kabuyonjo eyólukale wamu nábaana abato bazadde baabwe bafubye okubalaga kabuyonjo weri nga kino kikendezezza kbaali bamala geyambira webasaze némubuveera.
Dr Sarah Zalwango ku Lwomukaaga eyakulembeddemu n'enteekateeka ya Weyonje mu Katanga yazudde nti amayumba agasinga tegalina kabuyonjo nga bonna bagenda mu kabuyonjo eyólukale n'asaba abantu obutategza kubangisa nnyumba zitalina kabuyonjo.
Yagambye nti mu Kimwanyi zooni abantu okukozesa kabuyonjo eyólukale tekisobola kukuuma buyonjo kuba amayumba agamu gesudde akabanga okuva weeri nga omuntu bwagawau edidumusi kimutwalira akaseera okugitukako okusnga oyo alina kabuyonjo eyiye.

Omusajja ng'annyonnyola ebizibu bya Toilet za Katanga
Yalabudde bananyini bizimbe abateeka emidumu kubizimbe byabwe egifulumya amazzi amakyafu nti byakugalwa baka abantu abalala.
Yasabye abantu obutasuula kakasiro mu myala kuba gizibikira amazzi nebatatambula nga balina okumukungaanya mmotoka ka kasasiro zimutwale nga mu kitundu kya Kawempe kkampuni ya Hill top yelina okusomba kasasiro nga bwebaba tebakoze mulimu gabwe bekubire enduulu mu KCCA.
Yagamye nti era waliwo abantu abetumako ebintu ebisikiriza emese nébiyenje nga abakunyaanya ebibooki nébideya mu mbalaza nti kino kyabulabe kuba emese nébiyenje biretta endwadde nga balina okufuna okubala nga ebintu yebatetaaga babyejjako.