MUNNALOTALE yegasse ku bakozi ba Vision group okuyamba ababundabunda mu mambuka ga Uganda n’ebintu ebikalu okuli engoye n’engatto okubadde n’essuuti mwe yakubira embaga emyaka 30, egiyise.
John Lubega 67, ssentebe w’ekyalo kya Kamuli C, mu divisoni ye Namugongo mu munisipaali ye Kira y’omu ku bawulidde omulanga gw’omukunganya wa Vision Group ow’okuntiiko Barbra Kaija gwe yakuba gye buvudddeko ng’akunga abakozi ba Vision Group okutola ku byabwe baddukirira ababundubunda.
Lubega ebintu bino abirese ku kitebe kya Vision Group n'abikwasa omumyuka w’omukunganya ow’okuntiiko owa Vision Group Felix Osike, nga kuno aleteddeko n’ebifaananyi bye mbaga yaabwe ne mukyala we Oliva Nammanda Lubega eyaliwo emyaka 30 egiyise.

Ssenteb ng'alga ebintu by'aleese
‘’Essuuti eno yanjawulo nnyo mu bulamu bwange kubanga gye nayambala ng’ampasa kaabite wange mu kkanisa emyaka 30, egiyise .Nalabye nga kyamakulu okuwaayo ebimu by’omuwendo byange’’Lubega bwategeezezza
Agambye nti yadde simukozi wa Vision Group naye ng’omuntu ayakulira mu mikono gy’abazira kisa bwe yawulira omulanga guno yasalawo okutola ku bibye abiweeyo bigassa abali mu bwetaavu.
Lubega agambye nti eky’okuyamba abali mu bwetaavu kitundu ku bulamu bwe era nga mu biseera by’omuggalo gwa Covid -19, yali omu ku basooka okuddukirira omulanga gwa pulezidenti ng’atuusa obuyambi eri abantu b’ekitundu kye mungeri ezitali zimu.
Osike bwabadde akwasibwa ebintu bino nga naye munnalotale asiimye Lubega olw’omutima omugabi ate nasalawo okuwaayo ebintu eby’omuwendo okuli n’essuuti ye ey’embaga.

sentebe ng'akwasa omumyika w'omukungh'aanya wa NewVision Felix Osike ebyambalo
Asiimye omukwano Lubega gwalina eri abalala nagamba nti guno gwe mutima gwa bannalotale omutuufu ogw’okuyamba abali mu bwetaavu.
Osike asinzidde wano okukunga bannayuganda bonna okubegattako nga bawaayo kyonna kye basobola okuddukirira abantu bano nabo basobole okusanyukira mu mazuukira ga Kristu.
Ye Lubega yeeyamye okukunga abantu abalala era nasaba aba Vision Group okumukkiriza okubeera ekitundu kubo munteekateeka eno.