OMULBIRIZI we Namirembe Rt.Rev Moses Banja yakuutidde abazadde bulijjo okukuza abaana nga batya katonda ng’emu ku ngeri ejja okubayamba okubeera aboomugaso mu biseera by’omu maaso.
Yategeezezza nti omwana yenna akuze ng’alimu eddiini ebeera yegenderezza nnyo okukola ekintu ekivumaganya katonda bw’atyo n’asaba obutaasagira mu nsonga eno kuba nkulu ddala.
Banja okwogera bino bino yabadde akulembeddemu okusaba ku ssomero lya Budo Junior School nga yataddeko n’abaana 143 emikono.
Ono era yasinzidde mu kusaba kuno n’avumilira ebikolwa by’ekko wamu n’obutabanguko ebweyongedde mu maka ky’agamba nti kilaga ekifaananyi ekibi mu maaso ga katonda.

Bishop Banja ng'ali n'abamu ku baana abassiddwako emikono
‘’Ensonga y’enguzi nayo nayo kati efuuse baana baliwo mu ggwanga era nga ffe abalyoyi b’emyoyo tuvumilira ennyo abantu abalya enguzi kuba embeera eno ekola kinene nnyo okuzza eggwanga lyaffe emabega era nga tusaba abakola kino bateekebweko omukono ogwekyuma’’Banja bweyategeezezza.
Ye Ven.BK Buwembo Sabadinkoni bwe Nateete naye yasinzidde mu kusaba kuno n’asaba abakristaayo okukozesa obudde bw’ekisiibo kino okusonyiwa abaabasobya nabo omukama asobole okubawa empeera.
Omukulu w’essomero lino erya Budo Junior,Andrew Sentumbwe yategeezezza nti okusoomoozebwa kwebalina kwekuba nti ebizimbe abasomesa mwebasula bw’atyo n’asaba gavumenti okwongera okubakwatizaako ku nsonga eno.