Omaido abadde mutuuze mu zzooni ya Kamuli A esangibwa mu munisipaali ye Kira mu disitulikiti ye Wakiso era nga abadde akola nga akulira abakozi ku kakiiko k'ebyensimbi mu minisitule ya gavumenti z'ebitundu aka "Local Government Finance Commission."
Omu ku batuuze atayagadde kumwatuukiriza mannya yategeezeza nga bweyawulira omuntu nga alaajana nga agamba eddwaliro mu luzungu. Ono era yagasseeko nti omugenzi oluvannyuma lw'okumufumita yadduka n'akambe wabula bweyatuukako w'atuuse n'akasikamu omusaayi ne gweyongera okumuvaamu n'agwa wansi.
Brian Malinga abadde mukwano gw'omugenzi era mulirwana nga yeyatemya ku poliisi yategeezezza nga bwewaliwo abantu abasanga omugenzi nga agudde mu kkubo ne bamutemyako era bweyatuukawo nga Omaido gw'alaba kwekutemya ku poliisi ne vamuddusa mu ddwaliro gyebakabatemera nti ono yali afudde.
Okusinziira ku bujulizi obwaweereddwa Poliisi muganzi wa Omaido ayitibwa Oliver Agadi yategeezeza nga ku lw'okusatu lwa wiiki ewedde nga March 25,2026 bweyadda ewaka ku saawa 2:00 ez'ekiro n'asanga Aliya munju gweyali amanyi nti bayawukana ne Omaido era bo basula bombi mu kisenge ye n'asigala mu ddIiro mweyasula.
Agadi agamba nti nga bukedde ku makya ku sSaawa 12:00 Omaido yali ali mukwetegeka agende ku mulimu Aliya n'amugaana era awo wewaava okutabuka wakati w'ababiri okwasajjuka.
Ensonda mu poliisi Zategeezezza nti Agadi yategeezezza poliisi nga ye bweyali ava mu kiyigo okunaaba kwekusanga omusaayi nga guva mu kisenge kyokka nga teriiyo muntu yenna era agenda okufuluma yasanga Omaido omulambo gwe gugangalamye mu kitaba ky'omusaayi mu kkubo erida ku kizimbe kw'abade apangisa.
Ensonda mu poliisi zategeezezza Bukedde nga aliya bw'atalinze binaddirira n'abulawo nga Agadi abadde muganzi wa Omaido gwabadde abeera naye poliisi yamukutte era alumiriza munbe (Aliya) okutta Omaido.
Omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emiriraano Racheal Kawara yategeezezza nga poliisi bwekyali ku muyigga gwa Aliya n'akakasa okukwatibwa kwa Agadi okugiyambako mukunonyereza ku musango.
Omulambo gw'omugenzi gwagiddwayo mu ggwanika e Mulago ne gutwalibwa mu disitulikiti ye Ngora gyeyaziikidwa era nga gwatwalibwa muganda w'omugenzi Simon Peter Musangala.