Abantu ab’enjawulo beetabye mu kusabira omwoyo gw’omugenzi Edith Katende Mufumbiro nga y’abadde mukyala w’amyuka omwogezi w’ekibiina kya NUP, Alex Waiswa Mufumbiro nga ono ali mu kkomera mu kiseera kino ku misango egy’enjawulo.
Akulira abakyala mu NUP Flvia Nabagabe ng'assa ekimuli ku ssanduuke
Bw’abadde akulembeddemu okusabira omwoyo gw’omugenzi Katende ku Kanisa ya St. Stephens e Luzira, Ven. Can Geofrey Wilson Kakooza akuutidde abantu bonna okwekuba mu mitima gyabwe batunule mu bikolwa byabwe.
Ategezezza nti Katonda kyekiddukiro kyaffe fenna mu buli mbeera era nga ye yekka atasobola kutuvaamu nebwekuba nga okusomoozebwa kwenkana wa.

Abakungubazi nga bali mukusabira mukyala wa Waiswa Mufumbiro
Yekokodde abantu abajjudde omulugube nga bakola ebikolwa ebikyamu eri bantu bannabwe kyokka n’abajjukiza nti basaanye okukimanya nti Katonda yekka y’alina obuyinza obwokuntikko nga bwekityo tulina okumwekwasa mu buli mbeera.
Kyokka agumizza ab’oluganda n’emikwano olw’okuviibwako Katende n’abasaba okwongera okwekwata ku Katonda era n’ategeeza nga Katonda bw’abeera naffe wadde mu kulaba ennaku.
Yeebazizza Katonda ku lw’obulamu bwa Katende gw’ayogeddeko nga omuntu ezze ewa Katonda we nga yakkiriza obulokozi era n’asaba Katonda amwanirize nga omulongoofu.

Nibian Li ne Mukyala we nga bali mukusabira omugenzi Edith Katende
John Mary Ssebuufu ku lwa bannakibiina kya NUP asaasidde nnyo munnakibiina munnaabwe Waiswa olw’okuviibwako mukyala we n’asaba Katonda kwongera okubabudabuda era n’asiima nnyo abo bonna ababaddewo okuva Katende lweyalwala n’ebbanga ery’emyezi 6 Waiswa lyeyaakamala mu kkomera.
Kyokka akukkulumye olwa Kkooti okugaana okuyimbula Waiswa ku kakalu kaayo kyokka n’ategeeza nga bwebagenda okukola kyonna ekisoboka okulaba nga Katende aziikibwa mu kitiibwa ekimugwanidde.
Akulira abakyala mu NUP era nga ye mubaka omukyala owe Kasanda, Flavia Nabagabe Kalule asaasidde nnyo ab’oluganda bonna olw’okuviibwako omwagalwa waabwe n’asaba abaffamire abali okumpi ne bamulekwa okubabudabuda kubanga kinene nnyo okuviibwako maama.

Abakungubazi nga bali mukusabira omugenzi Edith Katende
Omumbedha Hellen Namutamba, akiikiridde eyaliko sipiika wa Palamenti nga yeyetisse n’obubaka bwa Kyabazinga amwogeddeko nga omuntumulamu era abaddev eky’okulabirako ekirungi eri abo bonna abamwetoolodde nga n’ekisinga obukulu abadde muntu asiima ebimukolebwa.
Ku lw’ababaka ba Palamenti abetabye mu kusabva kuno, Hussein Muyonjo nga ye mubaka omulonde owa Jinja North akukkulumidde abammye Waiswa okweyimirirwa n’ategeeza nga obuyinza bwebutalina kubemazaamu.
Omulwanirizi w’eddembe ly’obuntu, Miria Matembe ayogedde ku mugenzi nga abadde ow’empisa ennyo nga yesiimisa buli amulabako.

Abakyala nga bateeka ekimuli ku ssanduuke y'omugenzi
Awabudde abantu abefuula ab’amaanyi munsi nga abeyita ba Katonda okukimanya nti byebaliko byaberere era fenna tujja kuddizibwa mu maaso ga Katonda waffe.
Ku ky’omusibe Waiswa, Matembe amusabye abeere mugumu kubanga ne mu kitabo ekitukuvu ekya Bayibuli kyogera ku basajja abaatulugunyizibwa naye ate ku nkomerero nebawangula.
Abasibiridde entanda okuva mu kitabo kya Jeremiah Katonda w’alagira eggwanga eryali lizimbiddwa naye nga lyonoonose n’asuubiza okuddamu okubumba egwanga eddala era singa abantu bagaana yabalaga nga asobola okuleetawo akatuubagiro gyebali.
Asabye abantu okwekuba mu kifuba benenye era basonyiwe abo bonna ababasobya.

Abakyala ba Mothers Union nga bateeka ekimuli ku ssanduuke y'omugenzi
Loodi meeya wa Kampala omulonde era nga ye mubaka akiikirira Nakawa East asaasidde bannayuganda n’asaba buli omu okulongoosa.
Kyokka akukkumumidde kkooti olw’okubayisaamu amaaso bwebamutegezezza nti enkolagana ye ne Waiswa nemanyikiddwa kyokka nga ye yamukolerako ne ku mpapula zonna ez’okwesimbawo mu kiseera nga ali mu kkomera.