ABATUUZE e Mityana, baguddemu ekyekango bwe basanze embwa ng'ekaalakaala n'omukono gw'omuntu.
Beekozeemu omulimu ne banoonya mu musiri gw'emmwaanyi ogwa Godfrey Mulema, gye bagudde ku mulambo gwa musajjamukulu Ali Sabbiiti eyabadde abuze ennaku ntono eziyise.
Bino, bibadde ku kyalo Zzunga e Ttaba mu ggombolola y'e Busimbi mu disitulikiti y'e Mityana , omwana Joseph Sennyondo 12 gy'asanze embwa n'omukono era n'ategeeza jjajja we Janati Nakasubi , naye atemezza ku b’akakiiko ka LC 1 n'abatuuuze okwongera okunoonya.
Ku Mmande, Anthony Sebuggwawo, yaggulawo omusango gw'okubula kwa kitaawe Ssabbiiti era babadde bamunoonya, okutuusa bwe bagudde ku mbwa n'omukono ne kibayamba okuzuula omulambo gwe.
Omwogezi wa poliisi mu Wamala, Lameck Kigozi, agambye nti omulambo guggyiddwayo ne gutwalibwa mu ggwanika, naye nga guvunze era ng'ebitundu ebimu , biggyiddwako. Okubuuliriza kugenda mu maaso.