Amawulire

Omusirikale w'ekitongole ky'obwannanyini agambibwa okumenya e mmotoka n'abbamu ssente ne zaabu poliisi emukutte

Omusirikale w'ekitongole ky'obwannanyini agambibwa okumenya e mmotoka n'abbamu ssente ne zaabu akwatiddwa poliisi. 

Justine Akena ng'ali ku mpingu
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

Omusirikale w'ekitongole ky'obwannanyini agambibwa okumenya e mmotoka n'abbamu ssente ne zaabu, akwatiddwa poliisi. 

Justine Akena omukuumi w'ekitongole kya Maginum Security company, agambibwa okumenya e mmotoka y'omukyala Maggie Katuramu ku Goldex Uganda Ltd n'abbamu obukadde 29 ne gulaamu za zaabu 900 ezibalirwamu obukadde bwa shs 500, y'akwatiddwa. 

Obunyazi buno bwabaddewo nga April 10 ku Mawanda Rd mu Kampala era oluvannyuma n'abulawo era babadde bamuyigga okutuusa lwe bamukwatidde ku kyalo Ggasipa e Bweyale ng'atandiseewo akaduuka akola.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala Luke Oweyesigyire, agambye nti okubuuliriza kugenda mu maaso.