Amawulire

Kanso ye Kalangala eyogedde byebaagala okubbula mu Helen Nakimuli

Kanso ye Kalangala ekungubagidde abadde omubaka omukyala owe Kalangala Helen Nakimuli eyafa ku ssande ya ssabbitti ewedde. 

Kanso ye Kalangala eyogedde byebaagala okubbula mu Helen Nakimuli
By: Samuel Nkuba, Journalist @New Vision

Kanso ye Kalangala ekungubagidde abadde omubaka omukyala owe Kalangala Helen Nakimuli eyafa ku ssande ya ssabbitti ewedde. 

Mu lutuula olw'enjawulo abakiise naddala ba Kansala basabye omugenzi abbulwemu ebifo ebyenjawulo okubadde ekisaawe, oluguudo lwa Lwabanatya - Nakibanga olusangibwa ku kizinga Bukasa, Waadi y'abakyala ku ddwaliro e Kalangala kwossa ebirala. 

Bannakalangala nga bakungubagira abadde omubaka waabwe Helen Nakimuli

Bannakalangala nga bakungubagira abadde omubaka waabwe Helen Nakimuli

“Tusaba wakiri essomero erimu kugazimbibwa mu bizinga lweriba limubbulwaamu,” Kansala Gimono Kaggwa owe Bufumira bwagamba

Wano omubaka mu Palamenti owe Kyamuswa Moses Kabuusu asabye palamenti ekkirize eyise ekiteeso ekizimba skilling center ebadde etekebwatekebwa omubaka ono okusobola okumujjukira.

“Wakiri Gavumenti etekewo sente okulaba nga center ezimbibwa kubanga egenda kuyamba baana baggwanga,” Kabuusu bwagamba 

Wano kitaawe w’omugenzi Fr. Christopher Walusimbi asabye abazadde bulijjo okuliza abaana mu mpisa era nga balimu embala y’obwakatonda. 

“Okukungaana kuno kwakusiima mpisa omwana wange zabalaze era nsaba mufeeyo nnyo eri abaana naddala ab’obuwala,” Mwebale kunjagalira mwana. Fr Christopher bwayongeddeko. 

Abantu be Kalangala nga bakungubagira Helen Nakimuli

Abantu be Kalangala nga bakungubagira Helen Nakimuli

Dr. Rina Zedriga amyuuka omukulembeze w’ekibiina kya NUP abasabye okubeera abagumu bwatyo n'asaba abe Kalangala okuddamu okulonda munakibiina anaaba asunsuddwa olwo ekibiina kyedize ekifo kyayo. 

Omubiri gwa Nakimuli mu nkiseera kino guggyiddwa ku kitebe kya disitulikiti e Kalangala nga bagwolekeza Kampala olwo enkya gubeere mu palamenti .