Amawulire

Poliisi ye Kawempe ekutte babiri abagambibwa okunyaga abantu n'ebijambiya

POLIISI e Kawempe ekoze ekikwekweto mwekwatidde abavubuka abagambbwa okubeera mu kabinja k'abagambibwa okuteega abantu ne kabanyaga nga keyambisa ebijambiya ne basanga n'ebizibiti.

By: Eria Luyimbazi, Journalist @New Vision

POLIISI e Kawempe ekoze ekikwekweto mwekwatidde abavubuka abagambbwa okubeera mu kabinja k'abagambibwa okuteega abantu ne kabanyaga nga keyambisa ebijambiya ne basanga n'ebizibiti.
Bino byabaddewo ku Mmande ekiro poliisi e Kawempe bweyakoze ekikwekweeto ku luguudo lwa Ttula -Nammere ne bakwata abavubuka 2 abagambibwa okuteega abantu ne kabanyaga wamu n'okuyingirira amayumba g'abantu ne babatusaako obulabe.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emirirwano Rachael Kawala yagambye poliisi okukola ekikwekweeto kino kyadiridde okufuna okwemulugunya okuva mu bantu nti waliwo akabinja k'ababbi abakozesa ebijambiya era nga katambulira ku pikipiki nadala obudde obw'ekiro.
"Abatuuze mu bitundu bye Ttula ne Nammere batukirira poliisi e Kawempe nga bagala ebataase ku bamenyi b'abameeta