NGA bwe twalabye mu mboozi ezaakulembedde, embuzi zirundibwa mu nkola bbiri okuli; okuliira ku ttale, ate n’okuzirundira mu nnyumba nga buli kimu kizisanga awo.
Okusalawo ku nkola gy’ogenda okukozesa mu kulunda embuzi ku ffaamu yo, kitandika n’obugazi bw’ettaka ly’olina ate n’ekitundu w’ogenda okuzirundira, kuba buli nkola erina ebisaanyizo byayo ebigenda okukusobozesa okufuna ekiwera mu bizinensi yo.
EZ’OKULIISIZA KU TTALE
Agenda okulunda embuzi mu nkola eno, bwe zituuka wandisoose n’ozireka mu nnyumba ne zifuluma enkeera kiziyambe okumanyiira ennyumba n’ekifo okutwaliza awamu.
Kyokka singa obeera ozireese ku makya, ziwe essaawa mukaaga okumanyiira olwo ozite zigende okulya.
Embuzi ezirundibwa mu nkola eno, wandizitadde okugenda okulya waakiri ku ssaawa 4:00 ez’oku makya nga wano omusulo gubeera guwedde ku muddo wadde bangi batera kuzita ku ssaawa 9:00 ez’olweggulo okwewala okuzirwaza obulwadde bw’obumwamwamwa.
Obulwadde buno bukuba embuzi amabwa mu kamwa ne ziremwa okulya olwo ne zikogga n’oluusi okufa.
Okwawukana n’ebisolo ebirala ng’ente, embuzi ziwoomerwa omuddo nga guli waggulu era bw’obeera osaawa oba okulongoosa ettaka kw’ogenda okussa ffaamu y’embuzi tomalaamu buti naddala obusaana n’omuddoomulala embuzi gwe zisinga okuwoomerwa ne zisobola okugejja mu bwangu zikuwe ssente.
Bw’obeera n’ettaka eddene, olisalamu ebitundu eby’enjawulo (padokisi), olwo n’ogenda ng’oziriisa mu kitundu ekimu ng’ekirala bwe kimeramu omuddo olwo embuzi zo ne zisobola okulya ne zikkuta zisobole okukuwa ennyama okole ssente.
Embuzi eziteebwa okwenoonyeza omuddo, zeetaaga okuwa ebiriisa okwongereza ku muddo gwe zifunye ku ttale nga wano osobola okusooka okukebera omuddo okumanya ebiriisaoba obungi bwabyo mu muddo bimala. Kino osobola okukikola ng’oziwa omunnyo (mineral block), gw’osobola okussa ku ttale gye ziriira oba mu kiyumba we zisula olwo ne zibeera nga zigukomba.
Embuzi zisinga kulya nga ziri mu bukulu bwa wiiki 7-8 era nga wano emibiri gyazo gibeera gissaako ennyama eweerera ddala era gibeera gyetaaga ebiriisa nga biwerera ddala.
Ez’okuliisiza mu nnyumba
Okusookera ddala olina okusooka okukakasa nti, ennyumba gy’ogenda okulundiramu embuzi zo eri mu mbeera nnungi okuli okuba nti, tetonnya, nnyonjo, eyisa empewo n’ebirala zisobole okubeera nnamu bulungi kuba muno mwe zigenda okubeera ekiseera kyonna.
Embuzi nga zimaze okuleetebwa ku ffaamu era ng’omaze okuzirabirira okutandikira ku kuziwa eddagala okukkakkanya situleesi n’okutangira obulwadde bwe ziyinza okuba nga zifunidde mu kkubo oba nga zizze nabwo okuva ku ffaamu gy’oziguze.
Olw’okuba embuzi zino zibeera mu nnyumba, omuddo oba emmere gye zirya yonna erina kuleetebwa.
Okukakasa nti, embuzi zo zibeera n’omuddo ekiseera kyonna, wandirimye omuddo gw’okuziriisa okuli; Chroris gayana, sugar graze, alfa alfa n’emirala.
Omuddo guno gukaze era ogutabulenga mu muddo gw’oziriisa ebitundu 3 ku 100 era olina okufuna enkola egobererwa okuziwa omuddo ng’okusinga abalunzi baziwa emirundi ebiri olunaku ate abalala ne baziwa n’ekiro olwo ne zisobola okussaako ennyo omubiri.
Wabula embuzi zeetaaga okulya nga bwe ziwummulamu okusobola okukozesa emmere gye ziridde okugikyusa efuuke ebiriisa ebigenda okugiyamba okukula.
Olw’okuba embuzi zibeerazaakuleetera mmere, weetaaga okufuna ekika ekigenda okukyusa omuddo n’ebirungo ebiri mu mmere gy’oziwa bisobole okukozesebwa ofune ssente mu by’olunda.
Enkola eno era esinga kukozesebwa ku balunda embuzi z’amata kuba tezirina kutambula nnyo wabula okuwummula emibiri gyazo gisobole okukola amata.
Mu nnunda zombi, olina okukakasa nti, olina okubeera n’amazzi kuba embuzi zirina okunywa amazzi agawera kuba waliwo n’ezinywa okuwerera ddala mu liita 20 olunaku.