AGAMBIBWA okubba ddoola za munnamagye wa South Sudan asuze Luzira
William Ssemata 39 nga akola gwakuweereza bizimbisibwa ku woteeri ya Serena mu Kampala omutuuze we Nansana mu disitulikiti ye Wakiso yeyasimbiddwa mu maaso g'omulamuzi Rophine Achayo eyamusomedde omusango gwokubba ddoola omutwalo 12,000 mu za Uganda obukadde 45 n'omusobyo.
Kigambibwa nga April 12,2026 ku woteeri ya Serena mu Kampala okuva ku munnamagye wa South Sudan Brig General Aaron Jeremiah Ballanga zino ssente zaali zakugula birabo omukulembeze w'eggwanga lya Sudan byeyali amutumye.
Mu mpaaba ya kkooti kiraga nti Brig General Balla bweyava e Malaysia nga ayise Entebbe yasalawo asule ku Serena era mu kukeberebwa nga atuuse emigugu gye gyakeberebwa abakuumi ba woteeri eyo okwali ne Ssemata agambibwa okubba ssente zino.
Era nti ono yaweebwa omulimu gwokutwala emigugu gino Balla weyali agenda okusula wabula kamera enkessi mu kifo kino zaalaba Ssemata nga ayingira lifuti yekka ekiteberezebwa okuba nga weyafunira oluwenda okubba ssente zino kuba munda temwalimu kamera enkessi.
Okunoonyereza kwakolebwa era Ssemata yakwatibwa natwalibwa ku poliisi gyeyagiddwa okuleetebwa mu kkooti naggulwako omusango gwobubbi era teyakkiriziddwa kubaako kyayogera kuba omusango alina okubeera mu misango egyekikula kiti Ritah Neumbe Kidasa yabadde taliwo.
Omuwabi wa gavumenti mu musango guno Grace Amy yategeezezza kkooti nga okunoonyereza bwekukyagendau maaso n'asaba kkooti okubawayo obudde okwogera okufuna ebisingawo ku musango guno.
Ono yasindikiddwa ku meere e Luzira okutuusa nga May 13,2026