Amawulire

Bbanka enkulu ewakanyizza obuwaayiro mu tteeka erikugira ssente eziva ebweru

GAVANA wa Bbanka enkulu awakanyizza obumu ku buwaayiro obuli mu tteeka erikugira ssente okuva ebweru w’eggwanga n’agamba nti ssinga liyisibwa nga bwe liri, ebyenfuna by’eggwanga byakuddirira.

Atingi n’omumyuka we Augustus Nuwagaba nga bawa endowooza yaabwe ku bbago.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

GAVANA wa Bbanka enkulu awakanyizza obumu ku buwaayiro obuli mu tteeka erikugira ssente okuva ebweru w’eggwanga n’agamba nti ssinga liyisibwa nga bwe liri, ebyenfuna by’eggwanga byakuddirira.
Mu bbago ly’etteeka lino erya, ‘The Protection of Sovereignty Bill’, musango omuntu ssekinnoomu oba ekitongole ky’obwannakyewa okufuna ssente ezisukka obukadde 400 mu mwaka. Okufuna ezisingawo balina okusooka okufuna olukusa okuva ewa minisita w’ensonga z’omunda.
Etteeka lirina ebibonerezo ebikambwe ng’okusibwa emyaka 20, okuwa engassi ya buwumbi bubiri oba byombi. Gavana Michael Atingi Ego n’abakungu ba Bbanka enkulu beeyanjudde mu kakiiko ka Palamenti akali mu kwekeneenya ebbago n’etteeka n’abuulira ababaka nti etteeka lirimu ebirumira bingi ebikosa ebyenfuna by’eggwanga ng’okuteeka ekkomo ku bungi bwa ssente eziyingira mu ggwanga.
Ekitegezeeza nti eby’amaguzi ebiva wabweru w’eggwanga birina kufuulibwa bya bbeeyi okukakasa nti ensimbi z’eggwanga tezinaabuuka. Banka enkulu yagambye nti yeesigama nnyo ku nsimbi ezireetebwa abantu abali wabweru w’eggwanga okunyweza ebyenfuna nga ssinga ebbago lino liteekawo ekkomo, abantu baakytandika okukukusa ensimbi.
Okuwa minisita yekka obuyinza obukkiriza okuyingiza ssente ezisukka obukadde 400, kitegeeza ne bbanka ebeera erina okwewandiisa eri minisita ate ng’amateeka gagiwa obuyinza obwetengeredde.
Ng’ababaka beekenneenya ebbago, Ego yasabye Palamenti ekakase nga Banka Enkulu esigaza obuyinza bwayo nga bwe bulambikiddwa mu mateeka n’ebitongole ebirala nga ekya Financial Intelligence Authority ekirondoola entambula ya ssente mu ggwanga