Amawulire

POLIISI e Rubanda eri mu kuyigga abatemu, abakakkanye ku mukuumi w'essomero ne bamutema ebiso ku mutwe ne bamutta

POLIISI e Rubanda eri mu kuyigga abatemu, abakakkanye ku mukuumi w'essomero ne bamutema ebiso ku mutwe ne bamutta.

POLIISI e Rubanda eri mu kuyigga abatemu, abakakkanye ku mukuumi w'essomero ne bamutema ebiso ku mutwe ne bamutta
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

POLIISI e Rubanda eri mu kuyigga abatemu, abakakkanye ku mukuumi w'essomero ne bamutema ebiso ku mutwe ne bamutta.

Fred Mbabazi 52 ng'abadde akuuma ku ssomero lya Muko Butare High School mu Ggombolola ya Muko e Rubanda, y'attiddwa abantu abatannamanyika bwe bamulumbye ku mulimu w'abadde akolera.

Abadde abeera ku kyalo Habutobere mu muluka gw'e Butare e Rubanda era ng'omulambo gusangiddwa okumpi n'awali effumbiro nga gugangalamye mu kitaba ky'omusaayi.

Omwogezi wa poliisi mu Kigezi, Elly Maate, agambye nti ono abadde akuuma ne banne okuli Frank Birungi ne Frank Aharimpisa ng'omugenzi bwe yamaze okwambala n'agenda mu kifo w'akolera kyokka enkeera, omusomesa asanze mulambo.