Omuvubuka akakkanye ku muganzi we n'amufumita ebiso ebimusse ng'amuteebereza okuganza omusajja omulala.
Usain Serugo 28 y'agambibwa okutta muganzi we Sumaya Natukunda 25 gw'abadde amaze naye emyezi 10 mu bufumbo.
Bibadde ku kyalo Kakunyu C cell e Bukomero mu disitulikiti y'e Kiboga era ng'esaawa zino, Serugo, aliira ku nsiko poliisi emunoonya.
Kigambibwa nti omuvubuka ono, aludde ng'alumiriza Natukunda okubeera n'omusajja omulala era nga bombi, babadde bapangisa ku nnyumba za Edward Kasozi.
Omwogezi wa poliisi mu Wamala, Lamerk Kigozi, agambye nti omugenzi baakwataganye ne mukwano gwe Shifrah Kyosimire okugenda okukyakalamu nti bwe baakomyewo naamuleka g'akonkona bbaawe amuggulire nti yagenze okuwulira ng'alajana nti bba amufumise ebiso era n'agwa wansi n'afa.
Agasseeko nti baatutte embwa ya poliisi nemuwondera paka ku kkubo, n'ekoma awo nga kirowoozebwa nti yalinnye pikipiki oba emmotoka ne yeyongerayo