Amawulire

Minisita asabye abeebibanja obutatya olw’okuva mu minisitule y’ebyettaka

SSAABAWOLEREZA wa Gavumenti omupya, Dr. Sam Mayanja asabye abeebibanja obutatya olw’okuba yavudde ku bwaminisita omubeezi ow’ebyettaka kuba ofiisi ye empya ya egenda kubayamba nnyo.

Minisita Mayanja
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

SSAABAWOLEREZA wa Gavumenti omupya, Dr. Sam Mayanja asabye abeebibanja obutatya olw’okuba yavudde ku bwaminisita omubeezi ow’ebyettaka kuba ofiisi ye empya ya egenda kubayamba nnyo.
Yasinzidde ku pulogulaamu ya Mugobansonga Special ebeera ku Bukedde FM buli lwa Ssande ku ssaawa 1:00 ey’akawungeezi, ekubirizibwa Terah Kaaya.
Yeebazizza Pulezidenti Museveni olw’okwongera okumussaamu obwesige n’amuwa obwassaabawolereza n’agamba nti, waakubweyambisa okuyamba abeebibanja n’abantu abalala.
Kiddiridde Pulezidenti okulonda kabineeti empya mwe yalondedde baminisita 81. Mu nkyukakyuka ezaakoleddwa, Mayanja abadde minisita omubeezi ow’ebyettaka, yamufudde Ssaabawolereza wa Gavumenti.
Minisita yagambye nti, abeebibanja tebalina kutya kuba ofiisi gye baamutaddemu yaakuyamba abalina emisango gy’ettaka egikandaaliridde mu kkooti. Waliwo n’abalina emisango nga gyakwatibwa bubi n’agamba nti ofiisi ye bagenda kugyeyambisa okufuna obwenkanya.
Ekisinga obukulu, agenda kusigala ng’aweerereza mu Gavumenti ya Museveni azze alwanirira abeebibanja mu mbeera zonna.Nga Ssaabawolereza, ajja kusigala akwatagana n’abali mu minisitule y’ebyettaka kuba Gavumenti eri emu mu Uganda.
Yeebazizza abamuwagidde ebbanga ly’amaze mu minisitule eno ekimuyambye okutuuka ku buwanguzi obw’enjawulo. Mayanja agamba nti, omukwano gwa Pulezidenti eri oweekibanja tagukomya mu bigambo naye aguteeka mu bikolwa ng’abateerawo amateeka n’enkola ezibakuumira mu kumanya ebifa ku ttaka.
Eno y’ensonga lwaki yabateerawo ne pulogulaamu ya Mugobansonga Special ku Bukedde FM ng’ebiba byogeddwa bifulumizibwa mu lupapula lwa Bukedde buli Lwakubiri. Pulogulaamu eno yagambye nti, eyambye abantu bangi abazze bawa obujulizi nga n’abamu bali bweru wa ggwanga nga bakkiriza nti ebazibudde amaaso mu bintu bingi.
Pulezidenti yateeka ennyingo ya 237 mu Ssemateeka ekuuma abeebibanja nga tewali abataataaganya ne bw’aba n’ekyapa kyokka nga kuliko abantu abalala, abeera alina mpewo.
Tewali alina buyinza kugoba waakibanja ekyapa ne bw’oba wakifuna mu mateeka ng’okukigula, okukisikira, okukikuwa oba enkola endala. Mu mbeera eno, era tewali wa ttaka akkirizibwa kukaka waakibanja kumutoolako kitundu mbu amuwa ekyapa era tokkirizibwa wadde okupunta ebibanja by’abantu.
Oweekibanja wa ddembe obutatunda kibanja kye bw’aba tayagadde. Kyokka ne bw’aba ayagadde, era alina okusasulwa omuwendo omutuufu sso si kumufootola. Ettaka bwe liba lya Gavumenti, ennyingo ya 241 egaana obukiiko bwa District Land Board oba Uganda Land Commission okuligabira omuntu yenna ssinga kusangibwako abasenze.
Era ssinga akakiiko kaligaba, obuguzi buba bufu era n’abaakakiiko bavunaanibwa. Mayanja yalabudde abantu abagobaganya abeebibanja nti tebakoma ku kumenya mateeka, naye banyiiza ne Katonda kuba ne Bayibuli mu kitabo kya Zabbuli ekyogerako nti Mufunampola, Katonda y’amunyweza era y’akuuma entambula ze.
Obwannannyini bw’ettaka, Ssemateeka yali yabunyweza, okuggyako oweekibanja ye yali asigadde mu bbanga. Kyokka ebiragiro Pulezidenti by’azze awa bikoze kinene okutangira abaali basengula abeebibanja.
Minisita agamba, abantu basaana okutegeera obukulu bwa Pulezidenti kuba Ssemateeka amwogerako nga akulira Gavumenti, ensi, omuduumizi w’amagye ow’oku ntikko era nga kye kitikko kye kitiibwa mu ggwanga. Obuyinza obuweebwa Pulezidenti okukuuma abantu n’ebyabwe, kw’asinziira okuwa ebiragiro eby’enjawulo era omuntu yenna bw’abijeemera, akimanye abeera amenye Ssemateeka.