AMATEEKA g’ensi yonna agafuga ebidduka tegawagira kussa ggaadi za byuma ku mmotoka olw’obulabe bwe zirina.
Wabula ennaku zino buli muntu awulira ng’ayagala okwerinda obubenje obutakosa mmotoka ye okwonooneka assaako ggaadi ku kidduka. Ggaadi ezisinga ziteekebwa ku mmotoka nga zituuse wano.
Paul Kwamusi omukugu mu ntambula ya lukale era akulira ekitongole kya Integrated Transport System agamba nti bangi bateeka ggaadi ku mmotoka lwa butamanya ate abalala bazeeyambisa nga kyakulwanyisa eri bannaabwe bwebaba ku kkubo abayinza okwonoona emmotoka zaabwe.
Kwamusi annyonnyola nti okuteeka ggaadi ku kidduka kubaamu okukyusa embeera y’emmotoka okuva kweyo eyakolebwa era nga kiba kyetaagisa okugitwala mu minisitule y’ebyenguudo n’entambula okuddamu okugyekebejja okukasa oba tezigenda kuleeta buzibu.
Mu mbeera yeemu, ggaadi ku kidduka bweba nga teri mu mateeka eyinza okuviirako nnannyini kidduka obutaliyirirwa yinsuwa singa ofuna obuzibu ku kidduka kyo.
Emmanuel Aleti awa poliisi eyeekebejja ebidduka agamba nti ggaadi zitaataaganya empulirizo (sensors) eziyamba ebipiira by’omukka (Airbags) okuvaayo okutaasa obulamu bw’abantu singa wabaawo akabenje ak’amaanyi.
Engeri gye zitataaganya empuliriza oluusi ziremesa ebipiira okuvaayo mu ngeri nti emmotoka bw’efuna akabenje okukoona kubeera ku ggaadi olwo ssensa ezita ‘Airbags’ ne zitakola gwazo. Ate oluusi ebisawo biyinza okuvaayo nga tofunye kabenje wabula ng’otambulira mu luguudo olw’ebinnya
Emmotoka ng’eriko ggaadi bwekutomera oyinza okufa so nga wandiwonye nga tebaddeeko.
Ggaadi ezissibwa ku mmotoka mu kusooka nga ziva bweru wabula ennaku zino bazookyeza wano ne bazissa ku mmotoka