ABATEMU bawambye muwala w’eyaliko Katikkiro wa Buganda, Ying. John Baptist Walusimbi ne basaba ffamire ye obukadde 19, kyokka babadde baakabasindikirako obukadde 8 basanze mulambo mu kibira e Kakiri!
Omulongo Lydia Babirye Ssengendo, 52, azaalibwa omugenzi Paul Ssengendo, eyali mukulu wa Ying. JB.Walusimbi, ye yattiddwa mu bukambwe, oluvannyuma lw’okuwambibwa Shafiq Kagga, ow’e Bulenga mu Wakiso ne Abubakar Ntege, abeera e Nateete mu Lubaga. Mu kiseera Ssengendo, we yafiira mu 1984, Babirye, yalina emyaka
munaana era nga yali waakubiri ku baana abasembayo, kw’abo13, be yazaala ne mukazi we Lydia Namata.
Olw’emyaka emito kitaawe kwe yafiira, kitaawe omuto (Ying. Walusimbi) y’omu ku baaweebwa obuvunaanyizibwa bw’okubakuza, era ng’abadde atwalibwa nga kitaawe
omujjuvu.
Ffamire yategeezezza Bukedde nti, Babirye yava awaka w’abadde abeera ne nnyina Namata, e Ntinda- Kigoowa mu Nakawa nga June 3, kyokka baalaba tebamuwuliza
enkeera, mulongo we Sylvia Nakato Ssali, kwe kuddukira ku poliisi ya Old Kampala n’aggulawo omusango ku nnamba SD:70/04/06/2026.
Walusimbi n’aba ffamire, nga bayambibwako ebitongole by’ebyokwerinda, baabakana
n’omuyiggo okuzuula Babirye kyokka baali bakyali awo, muwala we, Leyla Nakisinde n’afuna obubaka ku ssimu ng’abatemu basaba ssente obukadde 19, bw’aba ayagala okuddamu okulaba ku nnyina nga mulamu.
Nakisinde, yategeezezza nti, yasooka kulowooza nti, bafere be agezaako okumufera, n’atabawa budde kyokka baali bakyasala entotto ku ngeri y’okuzuulamu nnyina ne bamusindikira ekifaananyi kye nga bamusibye ekigoye mu kamwa, okubakakasa nti, yali agenda kuttibwa ssinga ssente ze basabye, tezibatuukako mu budde. Kino kyaleeseewo akasattiromu ffamire, era mu bwangu ne babasindikirayo akakadde kamu. Kino kyanyiizizza abawambi, ne babasindikira obubaka obulala nga bakozesa essimu ya Babirye, ne babalagira ssente ezisigadde bazisindike ku nnamba endala (07594688905) eri mu mannya ga Shafiq Kagga.

Amaka g'omugenzi e Kigoowa
Mu kugezaako okutaasa obulamu,ffamire yasonzeeyo obukadde busatu ne babussaako ne bongerako n’obulala buna, ne buwera obukadde 8. Bino byabadde bigenda mu maaso ng’ekitongole ky’amagye ekya JAT ne Flying Squad, bayigga abaabadde emabega w’okuwamba Babirye.
Baasookedde ku Shafiq Kagga, gwe baakwatidde e Bulenga, oluvannyuma n’abatwala ku Abubakar Ntege, gwe baasanze e Nateete kumpi ne Best Hotel naye ne bamukwata. Ntege yasoose kwegaana, kyokka oluvannyuma lw’okumukunya, yakkirizza nga bw’amanyi amayitire ga Babirye. Kyaddiridde Kagga, okumulumiriza nti, ye yabadde amuyingizza mu ddiiru y’okusaba ssente.
Oluvannyuma Ntege, yabatutte mu maka ge agasangibwa ku kyalo Kiteredde e Kakiri mu Wakiso gye baasanze omulambo gwa Babirye, nga gusibiddwa emiguwa. Ntege yasoose kutegeeza nti, omugenzi abadde muganzi we nti era, yafudde kibwatukira bwe baabadde banyumya akaboozi ak’ekikulu. Kyokka ebigambo bye byakubiddwaamu ebituli olwa lipooti y’abakugu okuva mu ggwanika e Mulago okulaga nti, omugenzi yafudde kiziyiro, era nga yabadde teyeenyigidde mu kikolwa kya kwegatta.
Wakati mu kukunya Ntege, yalidde ebigambo bye n’ategeeza nti, omugenzi yasse mutte nga yeeyambisa akaveera ke yamutadde ku nnyindo n’akamwa! Okumpi n’amaka ga Ntege, abeebyokwerinda baagudde ku ntaana, eyabadde esimiddwa era nga mwe mwabadde mugenda okuziikibwa Babirye.
Omulambo gwabadde guzingiddwa mu bulangiti, era nga baabadde balinze obudde buzibe, bamuziike.
Bino bigenze okubaawo nga Mollette Komugisha, mukazi wa dayirekita w’essomero lya St. Abel School, Bosses Taremwa, erisangibwa e Bujowali mu Njeru naye yaakawambibwa abagambibwa okuba n’emmundu. Baasaba ffamire ye ssente obukadde 50, era bwe baazibawa, baamusuula okumpi n’amak = ge nga bakozesa boda. Susan Magara, 28, naye yawambibwa okuva e Lungujja, mu Lubaga mu 2018, abaawamuwamba ne basaba emitwalo 20, egya doola kyokka wadde nga baali
baakabawaako obukadde 200, baamutta.
ABAZZE BAWAMBIBWA ABATEMU NE BASABA SSENTE KYOKKA NE BABATTAl Magara yawambibwa nga February 7, 2018 ku luguudo lwa Kabaka Anjagala e Mengo.
Wakati ng’aba ffamire bikyabasobedde, abatemu baasalako Magara obugalo ne babubaweereza okubalaga nti, ebintu si bya muniino. Oluvannyuma baamutta omulambo gwe gwasangibwa mu lutobazzi e Kitiko wakati wa Kigo ne Kajjansi ku lw’e Ntebe. Magara ye yali omubazi w’ebitabo mu Bwendero Dairy. l Kham Kakama : Nga June 8, 2010, omwana ono eyali ow’omwaka ogumu n’ekitundu, yawambibwa mu maka ga bazadde be e Bugoloobi. Omutemu yabuzaabuza yaaya w’awaka, Mellon Nabaasa n’amulekera omwana, agenda okukomawo nga tamulaba. Abatemu baasaba bazadde ba Kakama, Sven Karekaho ne Naome Karekaho obukadde 30 babaddize omwana. Oluvannyuma lw’ennaku 13, omulambo gwa Kakama gwazuulibwa e Kyebando nga gusibiddwa mu kkutiya.
l Maria Nagirinya ne Ronald Kitayimbwa : Kitayimbwa yali ddereeva wa Nagirinya, baawambibwa nga August 28, 2019 nga baakatuuka ku maka ga Nagirinya e Lungujja mu Lubaga.
Abatemu baabassa mu mmotoka ne babavuga okutuuka e Mukono ne babatta era mmotoka ya Nagirinya ne bagitwala. Emirambo gyabwe gyasangibwa mu lutobazzi
e Nakitutuli ku lw’e Mukono – Kayunga.
l Godfrey Wayengera : Yawambibwa n’attibwa nga June 9,2025, bwe yali ava e Mbale
ng’akomawo ewuwe e Mukono.
Kigambibwa abaamuwamba baali mu byambalo by’amagye, era omulambo gwe baagusanga ku kyalo Namumira e Mukono. Poliisi yakwata abantu 7, okuli omujaasi n’omulala eyali yadduka mu magye ne babaggalira. l Charity Kyasimire : Yawambibwa nga March 22, 2018 bwe yali agenda ku kkanisa okusaba. Baamuwambira ku siteegi ya takisi eya Wandegeya – Bukoto, ne basaba aba ffamire ye obukadde butaano. Omulambo gwe gwasangibwa Kabowa mu Kampala. l Brinah Nalule : Yawambibwa mu May wa 2018, mu ppaaka Enkadde, bwe yali anoonya ezidda e Ziroobwe. Abaamuwamba baasaba bukadde 10, kyokka baba bakyanoonya ssente, omulambo gwe ne baguzuula mu lutobazzi e Nateete.
l Tony Ssewakiryanga 25 : Yali w’e Kikubampanga mu Kakiri nga yawambibwa nga May 4, 2026 ng’ava okulaba omupiira, abatemu ne bapeeka kitaawe obukadde bubiri kyokka yali akyazinoonya ne bamutta.
LIPOOTA YA POLIISI KU KIWAMBABANTULipooti ya poliisi eyafuluma mu 2025, eraga nti, abantu 338, be battibwa nga babawambye ne batugibwa. Rashid Kadala amanyiddwa nga Gashodo, y’omu ku bagambibwa okuba ng’abadde akulira ekibinja ekiwamba n’okutta abantu, ng’asinziira mu Buvuma ne Buikwe. Kyaddirira poliisi okumusanga n’essimu z’abamu ku bazze atta okuli gwe yabbako omutwalo gumu n’omulala emitwalo 5, kyokka oluvannyuma n’abatta n’abaziika mu luggya lwe. Omugenzi Babirye Amaka omugenzi Babirye
w’abadde abeera e Ntinda Kigoowa.