Amawulire

Munnabyamizannyo bamusse

ENFA y’omuzannyi w’erinnya owa ttiimu y’eggwanga eya Rugby erese ebibuuzo olw’akatambi akaafulumye ng’abantu bamukuba emiggo n’ensambaggere ebyamusse mu kavuyo. Sydney Gongodyo, 27, abadde omuyizi w’e Makerere era nga muzannyi wa linnya ku ttiimu y’eggwanga eya Rugby Cranes ssaako ne kiraabu ya Stanbic Black Pirates emu ku zisinga ettutumu mu liigi za Rugby mu  ggwanga ye yattiddwa.

Abaabadde mu kukungubagira Gongodyo e Lugogo. Mu katono bw’abadde
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

ENFA y’omuzannyi w’erinnya owa ttiimu y’eggwanga eya Rugby erese ebibuuzo olw’akatambi akaafulumye ng’abantu bamukuba emiggo n’ensambaggere ebyamusse mu kavuyo. Sydney Gongodyo, 27, abadde omuyizi w’e Makerere era nga muzannyi wa linnya ku ttiimu y’eggwanga eya Rugby Cranes ssaako ne kiraabu ya Stanbic Black Pirates emu ku zisinga ettutumu mu liigi za Rugby mu  ggwanga ye yattiddwa.

Mu kiwandiko ekyafulumiziddwa omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Rachael Kawala, yalaze nga bwe bakutte abantu basatu bagiyambeko mu kunoonyereza ku nfa ya Gongodyo, nga bano kuliko; Noordin  Ssebagala, Roden Ayebazibwe ne  Juliet Namukose nga bakuumibwa ku poliisi ya Kira Road. 

Ettemu lino lyabaddewo ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde ku ssaawa 8:00 ez’emisana e Naguru mu muluka gwa Bukoto 1, mu divisoni y’e Nakawa ekibinja  ky’abantu bwe kyakkakkanye ku Gongodyo agambibwa okuba nti, yabadde atambulira ku boda boda ne bamukuba bubi ekyamuviiriddeko okufa.
Wabula kigambibwa nti, owa boda boda eyabadde amuvuga olwalabye ng’embeera eddugadde ne yeemulula n’adduka. Poliisi egamba nti, ekyagenda mu maaso n’okunoonyereza okuzuula ekyaggye abantu mu mbeera ne batuuka okukuba omuntu okutuusa okufa. Kawala yategeezezza nti, abaserikale baabwe baasobodde okudduukirira embeera ne baddusa Gongodyo mu ddwaaliro e Mulago gye yafiiridde ku ssaawa
n 1:00 ey’akawungeezi oluvannyuma lw’okufuna ebiwundu eby’amaanyi.
Ono yavumiiridde ekikolwa ky’abantu eky’okutwalira amateeka mu ngalo n’abasaba bulijjo okutemyanga ku bw’obuyinza mu kifo ky’okukkakkana ku bantu ne babakuba.
“Ekikolwa kino kivvoola amateeka era kiyinza okuvaako abantu abatalina musango okufiirwa obulamu’’, Kawala bwe yategeezezza.
Pulezidenti w’omuzannyo gwa Rugby mu ggwanga Godwin Kayangwa yagambye nti, bafiiriddwa nnyo nga bannabyamizannyo kyokka n’eggwanga lyonna lifiiriddwa munnabyamizannyo ow’erinnya, ow’empisa ate omukkakkamu. Yagambyen nti kiruma okufiirwa omuzannyi abadde ow’amaanyi ate nga muto ekira kibakosezza nnyo nga ttiimu.
Aboogezi abalala baatenderezza Gongodyo ne bagamba nti balekedde eddibu ddene mu
ttiimu yaabwe kuba abadde wa nkizo nnyo. Ab’ekibiina ekigatta abazannyi ba Rugby mu ggwanga basaasidde ab’oluganda n’emikwano olw’okufiirwa omuzannyi nnakinku.
Mu kukungubagira omugenzi, oluzannya oluddirira olw’akamalirizo olwabadde lulina okubeerayo eggulo (Ssande) wakati wa ttiimu y’omugenzi  eya Stanbic Black Pirates ne Heathens abazannyi bonna baalagiddwa okwambala engoye enzirugavu n’okuwaayo  akadde okumujjukira.

Embeera yabadde ya kwennyamira olw’engeri Gongodyo gye yafuddemu wakati mu kutwalira amateeka mu ngalo.
ENTEEKATEEKA Z’OKUZIIKA

Eggulo (Ssande) abooluganda  n’emikwano baakung’aanidde ku Kings Park Arena e Bweyogerere nga banekedde mu mijoozi gy’omuzannyo gwa Rugby okukungubagira omugenzi, oluvannyuma omulambo gwatwaliddwa mu maka ga bakadde be mu kibuga ky’e Mbale ku Senior
Quarters e Bungokho awaakumiddwa olumbe. Omugenzi waakuziikibwa enkya (Lwokubiri) ku kyalo Bweri mu  Town Council y’e Budadiri mu disitulikiti y’e Sironko.