EKITONGOLE kya NEMA kiyimirizza mbagirawo ebikwekweto by’okumenya n’okusengula abeesenza mu ntobazzi.
Akulira NEMA, Barirega Akankwasah, mu bbaluwa gye yawandiikidde Loodi Meeyab wa Kampala, Ronald Balimwezo Nsubuga, yagambye nti bakkirizza okuyimirizab ebikwekweto okumala omwezi gumu, kisobozese Balimwezo okulonda akakiiko akavunaanyizibwa ku butonde bw’ensi mu Kampala.
Barirega yannyonnyodde nti omwezi guno ogumu gugenda kuyambako abantu ababadde batannaba kwetereeza, okukola ekisoboka okulaba nga basenguka mu bifon by’entobazzi, nga NEMA tennaddamu kukola bikwekweto byayo. Okusalawo kuno NEMA yakutuuseeko oluvannyuma lwa Balimwezo kubawandiikira ebbaluwa nga June
1, 2026 ng’abasaba okuyimiriza okumenya abantu abali mu ntobazzi, asooke alonde akakiiko akanaavunaanyizibwa ku butonde bw’ensi mu Kampala.
Akakiiko kano okusinziira ku Balimwezo, kalina okukolera awamu ne NEMA, okulaba nga tewabaawo kumenya mateeka na kutyoboola ddembe lya buntu wakati ng’ekola
emirimu gyayo.
Bino we bijjidde nga NEMA ettukizza okusengula abantu abaali beesenza mu ntobazzi, nga baatandikira Kawaala gye baamenya amayumba agawerako, ne badda e Busaabala gye baamenye amayumba wiiki ewedde, naddala ag’abantu abaali beesenza okuliraana omwala gwa Kaliddubi. Okusinziira ku Barirega, ebikwekweto bino tebigenda kuttira muntu n’omu ku liiso, okusobola okutaasa eggwanga ekibambulira ky’enkyukakyuka mu mbeera y’obudde. Wabula Bannayuganda NEMA bagitadde ku minzaani, olw’okumenya amayumba g’abantu abawejjere, kyokka bwetuuka ku bagagga n’etintima. Amawulire ga New Vision eggulo gaakoze emboozi, eraga abantu b’e Munyonyo nga beemulugunya olwa NEMA okulemererwa okusengula omugagga Rogers Ddungu, owa Ddungu Resort Beach, gwe balumiriza okutema poloti mu nnyanja, n’azizimbako ekikomera. NEMA bwe yali erabula abantu ab’okumenya, ne Ddungu yamutwaliramu, kyokka bwe yamenye ye yamutalizza. Wabula aba NEMA nga bayita ku mukutu gwabwe ogwa X, baawakanyizza ebigambibwa nti baalemeddwa okusengula Ddungu, ne bagamba nti Ddungu yajulira mu kkooti, era tebasobola kumenya nga kkooti tennaba kusalawo kya nkomeredde ku musango ogwo