OMULAMUZI Emmanuel Baguma alagidde oludda oluwaabi okuleeta abajulizi ku Lwokuna batandike okuwulira obujulizi mu musango gwa Dr. Kiiza Besigye ne banne.
Omulamuzi Baguma okuyisa ekiragiro kino kyaddiridde okugoba okusaba kwa bannamateeka ba Besigye nga bakulemberwa
Erias Lukwago okumutegeeza nti, baataddemu okusaba kw’okweyimirirwa ssaako okusaba okusaba okw’okulinnyirira eddembe lye kwe babadde bagamba nti, omusango omukulu teguyinza kugenda mu maaso ng’ate waliyo okusaba kuno okutannawulirwa.
Baguma yagambye nti, okusaba okweyimirirwa tekulina bwe kukosa kuwulira bujulizi ate eby’eddembe ly’obuntu teyabitegeddeko ng’omusango tegunnatandika olwaleero.
Kino kyaggye Besigye mu mbeera n’ategeeza omulamuzi nti, bagambe Pulezidenti Museveni nti, bwe bakwata abantu babasibe nga baggyeewo eby’okubawozesa okusinga okukozesa kkooti ensobi.
Besigye yasoose kutegeeza mulamuzi nti, asobeddwa ekigenda mu maaso kubanga okuteekateeka entambula y’omusango tennaggwa ate omulamuzi ali ku mutendera mulala nnyo ng’ate tebannaweebwa na bujulizi bwonna obw’oludda oluwaabi.
Bannamateeka ba Besigye baasanze akaseera akazibu kubanga byonna bye baleese nga baagala bye babeera bakkaanyako n’oludda oluwaabi okutandika okuwulira omusango bigaaniddwa era omulamuzi n’ategeeza nti, tewali tteeka liragira nti, abawaabi balina okukkiriziganya olwo okutandika okuwulira obujulizi kutandike.
Omulamuzi Baguma era yalonze abayambi ba kkooti basatu kw’abo abataano abaali baleeteddwa. Abagenda okumuyambako abalondeddwa kuliko; John Musana, Sarah Babirye ne Richard Okello era baakukuba ebirayiro ku Lwokuna omusango guwulirwe.
Omulamuzi era yalagidde omuwandiisi wa kkooti okuwa Lukwago ne bannamateeka banne bye beetaaga okusisinkana abantu baabwe nga beekenneenya obujulizi obwabaweebwa era n’abaamakomera babakkirizza okugendayo ekiseera kyonna okulaba abasibe.
EBY’OKUWANIKA BESIGYE KU KALABBA BIMUTIISIZZA, AWAABIDDE CDF GEN MUHOOZI
Dr. Kiiza Besigye ne Hajji Obed Lutale bataddemu okusaba mu kkooti nga baagala kkooti egobe emisango egibavunaanibwa olw’okutyoboolwa kw’eddembe lyabwe.
Bano okusaba kwabwe beesigamye ku siteetimenti z’aduumira amagye Gen. Muhoozi Kainerugaba nga bagamba eddembe lyabwe lyatyoboolwa, baatulugunyizibwa okuwambibwa, okusibwa awatali
Besigye ne Lutale mu kaguli ka kkooti nga boogera ne bannamateeka baabwe. Kozesa Vision Digital Experience olabe vidiyo.Ow’emyaka 6 afiiridde mu nkuba ng’azannya
kuwozesebwa n’ebigambo bya Gen. Muhoozi bye yagamba nti, ajja kumuwanika ku kalabba ku lunaku lw’abakozi.
Besigye ne Lutale baawabidde Gen. Kainerugaba, Col. Peter Ahimbisibwe ne Lt. Colt. Ephraim Byarugaba be bagamba nti, baagenda e Kenya ne bakuliramu okubawamba ne babakomyawo wano. Bano baabawaabidde wamu ne Ssaabawolereza wa gavumenti.
Besigye ne munne baagala kkooti erangirire nti, okuwambibwa kwabwe okuva e Kenya okubazza kuno kwali kumenya mateeka, ne basibibwa mu nkambi y’amagye, nga tebasimbibwa mu kkooti byonna byali bimenya mateeka.
Empaaba yaabwe bagambye nti, okubajja e Kenya ne babazza kuno kwali kumenya mateeka, ne baggalirwa okumala ennaku nnya, tebakkirizibwa kulaba bannamateeka baabwe, aba ffamire, abasawo ssaako abantu baabwe abaali beetaaga okumanya ebibakwatako okutuuka lwe basimbibwa mu kkooti y’amagye