EYALONDEDDWA ku bwaminisita w’eggwanga ow’ensonga ez’omunda kyokka n’asuulibwa Palamenti, Dr. Lawrence Muganga akulukusizza amaziga ng’ali ku biggya by’abakadde be Leonald Kayonga ne Immaculate Kayonga e Mukono.
Yeekokkodde abaamusudde nga bamulumiriza obutaba Munnayuganda mujjuvu n’agamba nti, bamulanga bwemage. Bino okubaawo, Dr. Muganga yabadde atutte bannamawulire ku kyalo gy’azaalwa era we baaziika bakadde be okulaga ensi nti, wadde eggwanga lye lya Banyarwanda, Munnayuganda ng’abantu abalala.
Yagambye nti, azaalibwa Ggwafu mu ggombolola y’e Goma mu Mukono nga ne bwe yali asoma, yavanga mu maka ge gamu era talina waabwe walala okuggyako e Mukono. Bwe yatuuse ku biggya bya bazadde be, yayunguse amaziga ng’alumiriza nti, abamulwanyisa,
bakikola mu mutima mubi.
“Nnali simanyi nti, olunaku lulituuka ne nzija ku biggya wano nga nneewozaako nti, ndi Munnyayuganda....”, Muganga bwe yagambye. Yalambuludde ku kiyinza okuba nga kyavaako obuzibu akakiiko okumuwandula nti, paasipooti eyogerwako nti y’e Rwanda yagifuna bwe yamaliriza okusoma e Uganda wabula n’afuna omulimu okukolera e Rwanda ng’alina okufuna ebiwandiiko byayo.
Kyokka nti, obutuuze bw’e Rwanda yabuwaayo ng’akyali na mu ggwanga lya Canada ne paasipooti n’agibaddiza era takyalinayo kakwate. We yakomerawo mu Uganda, yasaba obutuuze bwa nsi bbiri zokka okuli Uganda ne Canada era ne bumuweebwa ng’akaka-sizza abakwatibwako nti, obw’e Rwanda tabulina.
“Nnawaddeyo ebiwandiiko ebiraga nti, n’obutuuze bw’e Canada mbusazizzaamu kuba bwe mbadde nabwo bwokka mu mateeka kyokka nneewuunya nti, bannange bwe tubadde mu mbeera y’emu bo baakakasiddwa ku minisitule zaabwe ate nze ne ng’aanibwa era abannwanyisa balabika bannikako kizibu,” Muganga bwe yagambye.
Yasabye ne Gavumnti okunoonyereza ku bantu abassa ebiwandiiko bye eby’omuwendo ku mutimbagano omuli paasipooti ye. E Ggwafu, Muganga yeegatiddwaako abatuuze abaalaze obutali bumativu olw’omwana enzaalwa gwe baabadde bamanyi nti, afunye ekifo eky’obuvunaanyizibwa okuweereza eggwanga ne basaba Gavumenti ebiyingiremu.
Eyaliko ssentebe wa Mukono, Andrew Ssenyonga yasabye ensonga ya Muganga ekwatibwe na bwegendereza kuba azaaliddwa mu Uganda n’akulira mu nsi y’emu okummibwa ekifo tekiwa kifaananyi kirungi eri ensi.
Ate Ssentebe wa Ggwafu Central Zone, Abas Mukwaya yagambye nti, bo nga ab’ekitundu baali basanyuse nti, bafunye minisita ava ku kyalo kyabwe kyokka bwe baawulira ng’ate Palamenti emuwandudde, ne bafa ennaku.
Ate Frank Gasumba omu ku baawerekedde Muganga, yasabye Bannayuganda okuyimirira ne Muganga mu nsonga eno afune obwenkanya.