Amawulire

Ab'e Buddu basattira lwa bubbi bwa mmwaanyi

ABATUUZE ku byalo 3 okuli; Kayunga, Mijunwa ne Makoomi mu ggombolola y’e Bukango e Bukomansimbi mu Buddu basula ku tebuukye olw'ababbi b'emmwaanyi abasitudde enkundi.

Omumyuka wa RDC w’e Bukomansimbi, Luwaga ng’annyonnyola.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

ABATUUZE ku byalo 3 okuli; Kayunga, Mijunwa ne Makoomi mu ggombolola y’e Bukango e Bukomansimbi mu Buddu basula ku tebuukye olw'ababbi b'emmwaanyi abasitudde enkundi.
Ababbi bano abatuuze bagamba tebakyaliko budde kwe balumbira nga n'emisana ttuku balumba mu misiri nga n'abandi bazaanula mu mpya n’abalimi.
Bongeddeko nti, ababbi bano batambula n'ebissi ekiremesa abatuuze okubang’anga nga batya okubatuusaako obulabe. Embeera eno ewalirizza abeebyokwerinda mu disitulikiti eno nga bakulembeddwaamu omumyuka wa RDC, Joseph Luwaga, DPC Aggrey Kyesimira n'abakulembeze ku mitendera egy’enjawulo okuyita olukiiko bateme empenda ku butya bwe bayinza okunogera ekizibu kino eddagala.
Mu lukiiko luno, abatuuze baategeezza nga bwe waliwo akabondo k'ababbi akabasuza ku tebuukye kumpi buli lunaku kyokka nga ne bwe bakwatibwa ne batwalibwa ku poliisi, abakulembeze bennyini be babeeyimirira ekiwadde abamenyi b'amateeka bano amaanyi.
Kyokka bassemaka nabo balumiriza bakyala baabwe nabo okwenyigira mu bubbi bw'emmwaanyi ekyayongedde okuwuniikiriza abeebyokwerinda wadde ng’abakyala nabo beewozezzaako nti, bakikola olw'abasajja abaasuula obuvunaanyizibwa bwabwe.
Baagasseeko nti, bano tebakoma kubba mmwaanyi wabula n’emmere n'ebisolo nayo tebagitaliza. Bassentebe b'ebyalo n'amagombolola okuli; Desire Kagomu ne George William Ssebuuma okunenyezebwa baakutadde ku bazadde be bagamba nti, beesuliddeyo ogwa nnaggamba ku nkuza y'abaana abafuukidde ekitundu kino ekizibu ne basaba abeebyokwerinda okubayamba.DPC Kyesimira yagumizza abatuuze nti, obubbi baakubakwata wabula n’abasaba okukolaganira wamu ne poliisi okulaba nga bangalo mpanvu bano balinnyibwa ku nfeete.
RDC Luwaga aliko ebiragiro ebikakali bye yayisizza n’alagira bissibwe mu nkola bunnambiro