ST PETERSBURG/RUSSIA UKRAINE evudde mu mbeera n’ekola obulumbaganyi obw’amaanyi ku kibuga kya Russia ekya St. Peterburg, ng’ekozesa ennyonyi ezeevuga zokka, ebintu omuli n’ekkung’aanyizo ly’amafuta ne byonooneka bya nsusso. Russia yagambye nti obulumbaganyi buno bubadde tebubangawo bukyanga lutalo lutandika mu 2022. Drone za Ukraine zeefuze obwengula bw’ekibuga St. Petersburg, wakati nga Putin yakamala okuvaayo, mu lukungaana lw’ebyenfuna olwetabwamu amawanga mu nsi yonna. Olukungaana lwawedde Lwakutaano, Ukraine obulumbaganyi n’ebukola ku Lwomukaaga. Ng’oggyeko ekibuga kino, Ukraine yakoze obulumbaganyi ku bibuga ebirala okuli Belgorod, Bryansk, Kaluga, Kursk, Leningrad, Novgorod, Oryol, Pskov, Rostov, Ryazan, Smolensk, Tver, ne Tula. Kuno kwossa ebitundu bya Russia ebirala okuli Moscow, Crimea ne Abkhazia.
Okusinziira ku minisitule y’ebyokwerinda mu Russia, baasobodde okukuba Drone 376
nga zikyali mu bbanga ne zitatuuka ku nfo Ukraine gye yabadde ezisindise. Omuntu omu ye yattiddwa mu bugwanjuba bw’ekitundu kya Tver.
Gavana w’ekitundu ky’e Leningrad Aleksandr Drozdenko yagambye nti mu kitundu kye, baakubye Drone 140 nga zikyali mu bbanga,n ate ye gavana wa St. Petersburg Alexander Dmitriyevich Beglov yalagidde abantu obutafuluma bweru, nga guno gwe mulundi ogwasoose okuteeka abantu ku bunkenke mu kibuga kino bukyanga lutalo
lutandika.
Pulezidenti wa Ukraine, Volodymyr Zelensky yagambye nti amagye ge gaakubye amaterekero ga Russia ag’ebyokulwanyisa, kwossa enkambi y’egye ery’oku
mazzi erya Kronstadt naval base, n’ekung’aanyizo ly’amafuta erisangibwa mu katawuni k’e Ust- Labinsk.
Yagambye nti kino baakikoze nga beesasuza Russia olw’okubakolangako obulumbaganyi omufiiridde abantu ba bulijjo abayitirivu.
Era obulumbaganyi buno we bujjidde nga Pulezidenti wa Russia, Vladimir Putin yaakamala okugaana okusisinkana Zelensky boogere ku by’okukomya olutalo. Zelensky
wiiki ewedde yawandiikidde Putin ebbaluwa ng’amusaba batuule boogere eby’olutalo babiveeko, kubanga abantu bangi bafa, ate nga ne America gye basibiddeko okubayamba okubatabaganya nayo eri mu kuttunka ne Iran ebya bano eringa eyabisuulawo.
Russia nayo mu kwanukulan yasindise Drone mu bitundu eby’enjawulo mu Ukraine, era
mu kitundu ky’e Mykolaiv yasse omusajja ow’emyaka 64, ate mu Zaporizhzhia n’erumya omwana ne kitaawe. Mu kitundu ky’e Dnipropetrovsk nayo omuntu omu yattiddwa n’abalala basatu ne balumizibwa, okusinziira k mukutu gw’amawulire ogwa “The Guardian”.
Eggulo Katikkiro wa Bungereza, Keir Starmer, yasisinkanye Zelenskyy, ne Pulezidenti wa Bufaransa Emmanuel Macron, kwossa Cansala wa German, Friedrichb Merz, boogerezeganye ku ngerin gye bagenda okwongera okuyamba Ukraine mu lutalo luno.
Kinajjukirwa nti obukwakkulizo Russia bw’etaddewo okusirisa emmundu, kuliko Ukraine okukkiriza okuwaayo ebitundu byayo okuli Donetsk, Luhansk, Kherson
ne Zaporizhzhia, era enteekateeka z’okuyingira ekibiina kya NATO eziviireko ddala. Kino Ukraine ekiwakanya ng’egamba nti singa ewaayo ebitundu byayo, egendan kunafuwa mu by’enfuna kubanga ebadde esoloozaayo omusolo mungi, ate kijja kuwa Russia amaanyi okulumbanga Ukraine buli w’eba eyagalidde.