MIDDLE EAST
EBY’OKUKOMYA olutalo lwa America ne Iran buli lukya byongera kukaluba, amagye ga America bwe gakubye ennyonyi za Iran ennwanyi ezeevuga zokka, nga bagamba nti zibadde zitaataaganya entambula y’emmeeri z’amafuta mu kagolomolo k’ Hormuz. Okusinziira ku mukutu gwa Aljazeera, America era yakubye ennyonyi endala eza Iran nnya ezaabadde zoolekera akagolomolo ku Lwokutaano, n’ekuba n’emirongooti gya Iran egiri ku lubalama lw’akagolomolo, nga gino Iran gy’ekozesa okukuuma n’okulondoola eby’okwerinda mu Kagolomolo.
Amagye ga America agakolera mu kyondo kya Buwarabu aga US Central Command, gaagambye nti gali bulindaala okwerwanako buli lwe galaba nga Iran egezaako okutiisatiisa okubeera kwa America mu kitundu kino. Iran nayo mu kwanukula,n yawulugumizza mizayiro zaayo mu Kuwait ne Bahrain, kyokka gavumenti zaayo zaagambye nti zaasobodde okubaka mizayiro zino nga tezinnaba kukuba nfo gye baabadde bazisindise.
Embeera eno eyongedde okuteeka eby’okuteesa okukomya olutalo mu lusuubo, era abatunuulizi b’entalo bagamba nti okwekubaakuba Iran ne America kwe bakolam kwandivaamu okulwana okw’amaanyi ddala olwo ensi ne yeeyongera okukaaba ebbeeyi y’amafuta.
Akakunizo akalala akazze mu nteeseganya bye byobugagga bya Iran ebiweza obuwumbi 100 n’okusoba obwa ddoola, ebiriko envumbo mu mawanga ag’enjawulo. ran eyagala envumbo zino ziggyibwewo eby’obugagga byabwe babikozese, kyokka amawulire agava mu America gagamba nti Trump ne banne baafunye ekirowoozo ky’okuwa eby’obugagga bino eri amawanga ga Buwarabu Iran g’ebadde ekuba enkya n’eggulo, gasobole okuzzaawo ebintun Iran byeyonoonye mu lutalo. Ekiteeso kino kirabise okwongera okutabula enteeseganya, kubangam Iran nayo ssente zino ezeetaaga, esobole okutereeza ebyonooneddwa mu lutalo, n’okuyambako mu kaweefube w’okuzza engulu ebyenfuna. Pulezidenti Trump k Lwokutaano yagambyebannamawulire nti asuubira
Iran okuteeka omukono ku ddiiru, naye ekikyabalemesezza kwe kuba nga
beewulira eryanyi era beemanyi, nga kibakaluubirira okukkiriziganyan n’ebintu ebirabika nga bibakkakkanya, naye bagenda kumala bagonde.
Ate mu Lebanon okulwanagana wakati w’abakambwe aba Hezbollah ne Yisirayiri kukyagenda mu maaso, wadde nga Gavumenti ya Lebanon yateeka omukono ku
ndagaano ey’emirembe ne Yisirayiri. Abakambwe ba Hezbollah bawakanya endagaano eno, eram bagamba nti bagenda mu maaso n’okulwana, okutuusa nga Yisirayiri
eggye amagye gaayo munda mu Lebanon.
Kyokka Iran yo egamba nti endagaano yonna ey’emirembe gye batuukako ne America, eteekw okuba ng’etwaliramu ne Lebanon, era ekitali ekyo tebajja kukkiriza kuteeka mukono ku ndagaano ey’emirembe. Eggulo mu Yisirayiri abakambwe abatannategeerekeka kabinja kaabasindise baayingidde munda mu Yisirayiri na basindirira abantu amasasi okukkakkana ng’omuntu omu afiiriddewo ate abalala bataano ne baddusibwa mu ddwaaliro. Akabinja ka Hamas ne Islamic Jihad obukolera e Gaza, bwasanyukidde obulumbaganyi buno era ne buwera nti tebugenda kuweera okutuusa nga Yisirayiri evudde mu ttaka lyabwe.