Amawulire

Amasannyalaze gatabudde abasuubuzi ba Owino

ABASUUBUZI ba St. Balikuddembe basitudde enkundi nga beemulugunya olw’amasannyalaze agazzeemu okulinnya ate nga tegabeerako ne basaba KCCA ebayambe ku kizibu kino.

Awamu aba Owino we bafunira amasannyalaze.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

ABASUUBUZI ba St. Balikuddembe basitudde enkundi nga beemulugunya olw’amasannyalaze agazzeemu okulinnya ate nga tegabeerako ne basaba KCCA ebayambe ku kizibu kino.
Baawandiikidde dayirekita wa Kampala, Hajjati Sharifah Buzeki ne bamuloopera amasannyalaze agabattidde emirimu ate akakiiko akagaddukanya aka ‘Masanyalaze Group’ tebabawuliriza. Beemulugunyizza ku bbeeyi yaago eyalinnya okuva ku 690/- okutuuka ku 750/- nga tebasoose kutegeeza KCCA wadde abamu ku bammemba ku kakiiko.
Beewuunyizza nti, kkampuni ya UEDCL akatale kaabwe yakassa ku nsasula y’ebitongole bye baggyako 400/- buli yuniti era balaba nti, bwe bagasasulira ku 690/- buli yuniti, zimala tewali nsonga lwaki bagongeza okutuuka ku 750/-.
Abasuubuzi beemulugunya nti, abaddukanya amasannyalaze baasuula obuvunaanyizibwa bwe baabawa okusasula ebbanja ly’obukadde 150 eryali libabanjibwa mu myezi esatu. Mu myezi 12 egiyise, kati akatale bakabanja obukadde obusoba mu 180 ezisinga n’ezaali zibanjibwa nga bali mu ntegeka enkadde era abasuubuzibalaba nti, enkola eyo eremye.
Mu kiwandiiko abasuubuzi baalaze nti, abaddukanya amasannyalaze balemeddwa okuwa KCCA lipooti eraga bwe bakung’aanya ssente za buli lunaku n’engeri gye bazisasula UEDCL buli lunaku.
Mu kiwandiiko abasuubuzi balaga nti, waliwo amasannyalaze agagabibwa ebweru w’akatale mu balina ebyuma ebinene ne kikendeeza ku bungi bwago n’okwongera okuvaako era basabye Hajjati Buzeki okuyimiriza ssente ezaabongezeddwa basigale nga basasula 690/-.
KCCA esseewo akakiiko kanoonyereze ku ssente ezisoloozebwa n’engeri gye zikwatibwamu ssaako amasannyalaze agagabibwa ebweru w’akatale.
KCCA eragire bayinginiya baayo basaleko amasannyalaze agaayungibwa mu bukyamu ku g’akatale. Basabye Buzeki nti, singa abamasannyalaze tebakkiriziganya na biragiro bya KCCA ku kuyamba abasuubuzi, bayimirizibwe.
Baagala KCCA enoonyereze ku bbanja n’enkwata y’amasannyalaze mu katale kuba gasusse okuvaako. Baagala KCCA egoberere ekiragiro Pulezidenti Museveni kye yawa mu 2023 ekiragira nti, KCCA eggyewo babbulooka mu katale ekolagane n’abasuubuzi buteerevu.
Basabye balonde akakiiko akapya ku masannyalaze gatereere nga bwe kiri ku nzirukanya y’amazzi agataliiko buzibu kuba tegaddukanyizibwa kkampuni. Ekiwandiiko kiriko amannya ga Robert Mukalazi ne Baisha Nayiga. Wabula abaddukanya amasannyalaze abaakulemberwa Godfrey Igga baagambye nti, akatale ke kasinga okuba n’amasannyalaze aga ssente entono mu kibuga era singa tegalinnyisibwa okutuuka ku 750/- tegasobola kubeerako buli kiseera.
Yalabudde nti, abalwanyisa enzirukanya y’amasannyalaze beenonyeza byabwe kuba eky’okugafulumya ebweru w’akatale ntegeka ya UEDCL ate nabo basasula.