BWE baalabye nga ffamire ya muwala w’eyali Katikkiro wa Buganda, Ying. John Baptist Walusimbi, ebakandaaliriza ku by’okubasindikira ssente, abaawambye n’okutta Lydia Babirye Ssengendo, 52, baayiiyizza akakodyo k’okusindika ekifaananyi kye.
Baamusibye ebigoye mu kamwa okwongera okubakakasa nti, kye baabadde boogerako bakitegeeza.
Ekifaananyi baakisindikidde muwalawe, LeylaNakisinde era olwakakasizza nti ye muntu waabwe gwe banoonya, baasattidde. Baatandise okunoonya ssente ezaabasabiddwa baziweeyo bataase omuntu waabwe. Abubakar Ntege ne Shafiq Kagga be bamu
ku bateeberezebwa okwenyigira mu ttemu lino.
SHAFIQ KAGGA YE ANI?
Okunoonyereza kulaga nti Shafiq Kagga 35, nga muvuzi wa bodaboda, ye yasoose okukwatibwa ku by’okuwamba n’okutemula Lydia Babirye. Yalumirizza Abubakar Ntege nti ye yamuyingizza ddiiru eno.
Kagga, omutuuze w’e Nankuwadde, yakwattiddwa ku Lwomukaaga nga June 6 akawungeezi mu bitundu by’e Bulenga. Yasangiddwa ne layini y’essimu y’omugenzi okwabadde kutuukira ssente ezaabadde zisindikibwa aba ffamire. Yagambye nti,m ennamba y’essimu 0759468905, ey’omugenzi yamuweebwa Ntege okutambulizaako ddiiru za ssente.
Abubakar Ntege akwatibwa; Abaserikale ba JAT n’aba Flying Squad, baawazeewaze Kagga n’abatuusa ku Ntege e Busega ku Best Hotel. Ntege yasooseb kwegaana kyokka n’agonda era n’akkiriza buli kimu. Yategeezezza nti Babirye yamuwamba Lwakusatu nga June 3, n’amutwala mu maka ge e Kiteredde-Kakiri.Wadde yeddira omuziro gwe gumu n’omugenzi ogw’Effumbe, Ntege era yategeezezza nti babadde batta ekyama era nga beerabidde akabanga. Yannyonnyodde nti, omugenzi yagezaako okumulwanyisa nga
bali bombi era mu kacankalano ako, n’amufaako mu ngeri gy’atajjukira.

Poliisi teyamatidde na kwewozaako kwa Ntege olw’engeri ekifaananyi ky’omugenzi bwe kyabadde kifaanana. Amangu ddala ate Ntege yattottodde engeri gye baakozesa ekifaananyi okufuna ssente eziwerako okuva mu ba ffamire y’omugenzi. Agamba nti, okubasindikira ssente akakadde azaasooka, baakiraba ng’okubayisaamu amaaso kwe kusalawo ne basindika ekifaananyi ng’omugenzi bamusibye ebigoye mu kamwa. Ntege, agambye nti kino kyabakolera kuba oluvanyuma aba ffamire baatandika okubasindikira ssente eziwera okwali 3,000,000/- n’’endala 4,000,000/- okuweza 8,000,000/- ku 19 ze baabadde basabye.
ABAASEMBYE OKWOGERA N’OMUGENZI
Okunoonyereza kulaga nti omugenzi bwe yali ava awaka e Kigoowa-Ntinda, yayogera n’abantu ab’enjawulo. Ku bano kuliko, Abdul Lubega, Jamirah Nakku, bba Saidi Katumba, Francis Ndugga, Sylvia Ssengendo Ssali, Umar Mukuye, Irene Nabayunga,
Grace Makubuya ne Annet Nanyange Ssekibaala. Kizuuliddwa nti Ntege agambibwa okutta Babirye, mu kaseera we baasisinkanira, yayogera ne Isma Ssegujja, Ali Sakali, ne Shafiq Kagga kyokka tekinnamanyika oba balina akakwate ku ttemu lino. OKUNOONYEREZA
Ensonda mu Poliisi zaategeezezza Bukedde nti oluvannyuma lw’okukkiriza omusango gw’okuwamba n’okutta omugenzi, Ntege ne Kagga baatwaliddwa mu kkooti ne bakuba ebirayiro ku bujulizi bwe beewaddeko. Basuubirwa okutwalibwa mu kkooti enkya (Lwakusatu) nga June, 10,2026 bavunaanibwe mu butongole emisango egiri ku ffayiro CRB: 607/2026, ku Poliisi ya Kampala Mukadde.
OKUZIIKA OMUGENZI
Sheeba Nazzibwa, omu ku ba ffamire yategeezezza nti leero lwe baziika ku bijja bya bajjajjaabe e Bakka mu disitulikiti y’e Wakiso.