POLIISI ya Old Kampala, ez-inzeeko paakingi e Kasubi ku Munaku, n’ezuula pikipiki 80 eziteeberezebwa okubeera enzibe n’ekwata abantu 9 okuyambako mu kunoonyereza.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire yagambye nti nga June 16, 2026 poliisi yafu-nye amawulire nga bwe waliwo paakingi omukuumirwa pikipiki e Kasubi ku Munaku ne bagendayo era pikipiki bbiri ku ze baasan-zeeyo, zeeyambisibwa mu musan-go gw’obubbi e Muyenga.
Yayongeddeko nti, abantu 9 baakwatiddwa nga baakuyam-bako poliisi mu kunoonyereza. Baakubuulira abaserikale ebi-zikwatako n’asaba ababbibwako pikipiki zaabwe okugenda ku poliisi n’ebiwandiiko ebizoogerako balabe oba mulimu ezaabwe. Gye buvuddeko, poliisi y’e Katwe yakoze ekikwekweto mu Wansanso zooni okumpi ne Muganzirwazza n’eyaza amaduuka gonna agatunda sipeeya wa pikipi-ki n’ezuula ng’ezimu ku pikipiki bazibba ne bazitema sipeeya ne baddamu okumutunda.