KKOOTI esaze eggoye ku lutalo lw’abasuubuzi ku ppaka empya n’eragira abagagga Kiyimba Freeman, Gaster Lule Ntake n’abalala okusasula abasuubuzi n’okubawa omwaliiro mulamba ku kizimbe, lwa kuziimuula biteeso bya bammemba.
Omulamuzi Stephen Mubiru yalagidde omugagga Freeman, Ntake n’abalala okuli John Rogers Tusingire , Masa Nagadya, Milton Muhwezi, Wilberforce Lugayavu, Muhamad Ssemanda ne Mukasa Sekalo okusasula akawumbi kamu n’obukadde 26, ssaako ssente abaawaaba ze baateekamu era bagatteko n’amagoba.
Kkooti abagagga bano ebaranze kuziimuula ebyasalibwawo mu lukiiko lwe baatuula okukulaakunya ekifo nga beegattira mu kibiina kyabwe ekya New Park Lockup Owners Association.
EMISANGO GYE GYATANDIKIRA
Abasuubuzi Sarah Nabuuma Kakooza ne Hussein Kakooza baddukira mu kkooti etawulula enkaayana z’ebyobusuubuzi oluvannyuma lw’okulekebwa ebbali nga bagabana amaduuka ku kizimbe ekiri ku ppaaka empya.
Bino byatandika KCCA bwe yalagira abasuubuzi ku ppaaka empya okukola ekibiina ekibagatta okusobola okufuna liizi ku ttaka kwe baali bakolera.
Ebiwandiiko bya kkooti biraga nti Kakooza yagula omudaala nnamba L081 mu 1995 ate Nabuuma yalina omudaala L079. Olw’ekiragiro kya KCCA, abasuubuzi baakola ekibiina kya New Park Lockup Owners Association okufuna liizi okuddukanya enkulaakulana n’okuddaabiriza ekifo ekyo.
Bakkiriziganya baleete ssente okukulaakulanya ekifo kyabwe nga bazimbako ekizimbe ky’obusuubuzi ekya kalina. Olukiiko lwatuula nga December 11, 2010 ne lusalawo bannannyini midaala (lockups) abaasooka abamanyiddwa nga ba landiroodi baweebwe omwaliiro ogusooka amaduuka agaliko obunene bwa ffuuti 10 ku10 ekizimbe bwe kinaaba kiwedde. Kino kyali kyakukolebwa ssinga bammemba abo basasula ssente ezaabasalirwa mu kuzimba ekizimbe ekyo.
Nabuuma ne Kakooza nga basinziira ku byasalibwawo baasasula buli omu obukadde 88 n’ekitundu, wabula baategeeza kkooti nti okuzimba bwe kwaggwa Nabuuma yaweebwa akasenge katono ate ku mwaliiro ogusembayo waggulu.
Wabula ab’ekibiina kino baakyegaana ne bagamba nti amaduuka baagagabanga mu nkola ya asooka y’afuna awasookerwako.
Omulamuzi Mubiru yagambye nti ebyasalibwawo mu lukiiko olwatuula mu December 2010 byali bya ssimba eri bannakibiina, noolwekyo ekibiina kyali tekirina buyinza kwefuulira bammemba ng’ate baali bamaze okusasula ssente zaabwe.
Kkooti yalagidde basasule Nabuuma obukadde 283 n’emitwalo 50 ate Kakooza asasulwe obukadde 15 olwokutaataaganyizibwa kwe yayiseemu ng’anoonya obwenkanya, kubanga ye teyawaayo ssente. Kkooti era yalagidde basasulwe obukadde 957 n’emitwalo 55 nga zino zaabaliddwa okusinziira ku mbeera ya ssente eriko kati nga zandibadde zivudde mu kupangisa amaduuka ago n’okusasula ssente zonna ze basaasanyizza. Omulamuzi era yalagidde edduuka nnamba 763 ku kizimbe kino liweebwe Nabuuma era bakyuse mangu n’ebiwandiiko