Amawulire

Abantu basatu bakwatiddwa pPoliisi y'e Kyankwanzi ku bigambibwa nti bakubye mutuuze mu nnaabwe ne bamutta

Abantu basatu bakwatiddwa poliisi y'e Kyankwanzi ku bigambibwa nti bakubye mutuuze mu nnaabwe ne bamutta

Abantu basatu bakwatiddwa pPoliisi y'e Kyankwanzi ku bigambibwa nti bakubye mutuuze mu nnaabwe ne bamutta
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Abantu basatu bakwatiddwa poliisi y'e Kyankwanzi ku bigambibwa nti bakubye mutuuze mu nnaabwe ne bamutta. 

Kigambibwa nti bwe bamaze okumutta, oluvannyuma bawanise omulambo gwe ku muti gw'omumwanyi waggulu, okulowoozesa abalabi nti yetuze. 

Attiddwa, ye Sipiryano Kwitonda 32 ng'abadde mulimi ku kyalo Ssesamu mu Ggombolola y'e Ntwetwe mu disitulikiti y'e Kyankwanzi. 

Kigambibwa nti omugenzi yalumbaganye mukyala we Esther Mukakamanzi bwe baali bayawukana, n'amukuba era ensonga ne zitwalibwa ewa Ssentebe wa LC1 Didas Muzarugamba ng'eno era baayongedde okulwanirayo. 

Kitegeezeddwa nti omukyala yegattiddwako abantu abalala okuli Innocent Muntembanza ne bakuba omugenzi eyabadde alabika ng'atamidde ne bamutta. 

Kigambibwa nti omugenzi yavudde mu kifo ekyo oluvannyuma lwa nnyina Perus Mukahenori okumuwa amagezi adde awaka nti kyokka teyatuuse, ku makya, basanze mulambo ku muguwa ku muti. 

Omwogezi wa poliisi mu Wamala, Lameck Kigozi, agambye nti bakutte Ssentebe wa LC 1 mu Kitundu ekyo Didas Muzarugamba, Innocent Munyembanza 35 ne Esther Mukakamanzi 36,abagambibwa okumutta ne bamuwanika ku muguwa