Amawulire

85 okwekulaakulanya Taata w'omukuumi wa Chamili eyattiddwa

ABALINA ssaaluuni nga bayita mu kibiina ekibagatta ekya Federation of 'Uganda Salons and Beauty Professionals', basomeseddwa ku ngeri y’okutereka ssente basobole okwekulaakulanya.

Aba ssaaluuni nga bali mu musomo gw'okutereka ssente mu NSSF. Rashid Ruman
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

ABALINA ssaaluuni nga bayita mu kibiina ekibagatta ekya Federation of 'Uganda Salons and Beauty Professionals', basomeseddwa ku ngeri y’okutereka ssente basobole okwekulaakulanya.
Baakung'aanidde ku kisaawe ky’e Namungoona mu ggombolola y’e Lubaga mu Kampala ne bakuutirwa okutandika okutereka ne NSSF kubanga teggyaako ssente za buteresi.
Omusomo guno we gujjidde ng’abakola mu ssaaluuni bakaaba olw'obubiina bwe baterekamu ssente okuzibbanga naddala obwa SACCO.
Eyakulembeddemu enteekateeka y’okusomesa, Celestine Kamanyire era nga ye ssentebe w’ekibiina ekigatta aba ssaaluuni yagambye nti, bizinensi yaabwe erudde ng'enyoomebwa kuba bakola naye tebakulaakulana.
Yategeezezza nti, bagenda kwongera obuyiiya n’obukugu mu bye bakola n’okugoberera amateeka basobole okuganyulwa mu buwumbi 85 Pulezidenti Museveni ze yawadde ekibiina kyabwe okwekulaakulanya.
“Okusooka okusomesa abantu baffe nsonga nkulu nnyo kubanga bwe tutakikola, ssente Pulezidenti ze yawadde abantu zisobola okuboonoonekako,” bwe yayongeddeko.
Kamanyire yagambye nti, baasoose ne Lubaga kubanga y’eggombolola esingamu SACCO za ssaaluuni ennyingi nga ziwera 30 nga enteekateeka eno bagenda kugibunyisa eggwanga lyonna nga buli wa ssaaluuni abangulwa ku ngeri y’okutereka ssente n’okwekulaakulanya.
Christine Namale omu ku beetabye mu musomo guno yagambye nti, baategeezeddwa nti buli SACCO egenda kufuna obukadde 100. N'agattako nti, bagenda kweyambisa ssente zino okugula ebyuma eby’omulembe n’ebikozesebwa ebirala basobole okusitula omutindo.
Yakubirizza abakyala okwongera obuyonjo mu ssaaluuni zaabwe n’okwewala okuzifumbiramu ekiyinza okuleeta obubenje obuva ku muliro.