ABAYIZI ba S4 ku ssomero lya NewLife ekisangibwa mu kibuga Luweero, bali mu kiyongobero oluvannyuma lw’omu ku basomesa okukkakkana ku munnaabwe n’amukuba embooko ezaamuviiriddeko okufa.
Omuyizi Nicholas Nakibinge abadde asoma S.4 mu ssomero lya NewLife SS, ye yafiiridde ku ddwaaliro ly’e Kasana mu Luweero gye yatwaliddwa ng’azirise.
Kigambibwa nti, kino kyaddiridde omusomesa ayitibwa Abraham Mukalazi okukuba omuyizi embooko ezaavuddeko okuzirika n’abimba ejjovu.
Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu kitundu kya Luweero, Samuel Twineazima yagambye nti, bino byabaddewo ku Lwokubiri, ng’era omusomesa Mukalazi yadduse.
Okusinziira ku Twineazima, poliisi eriko abakozi b’essomero lya NewLife babiri be yakutte bagiyambeko nga kino kuliko; Keny Mubiru akola nga warden ne Margaret Akisa ng’ono musomesa.
Kigambibwa nti, omuyizi Nakibinge oluvannyuma lw’okukubwa embooko yatalanguse n’azirika ng’eno bw’abimba ejjovu ekyawalirizza bannannyini ssomero okumuddusa mu ddwaaliro ly’e Kasana gye yafiiridde.
Okusinziira ku basawo e Kasana, okufa kwa Nakibinge kwavudde ku kwetukuta kwa musaayi munda.
Bukedde we yatuukidde ku ssomero lya NewLife ku Lwokusatu ku makya, yasanze abayizi bali mu kiyongobero.
Bo aba siniya eyookuna Nakibinge mw’abadde asoma, tebaasomye nga kigambibwa nti, baabadde mu kukungubaga.
Ekimu ku bibiina omugambibwa nti, omugenzi mwe baamukubidde embooko, poliisi yabadde ekisazeeko wakati mu kunoonyereza okwabadde kukyagenda mu maaso.
Abamu ku basomesa ab’olubatu abaabaddewo baagaanyi okubaako kye boogera ne bajuliza bannannyini lyo.
Okuggyako omu ku bannannyini ssomero, Paul Mukungu yakkirizza n’agamba nti, omuyizi kituufu yakubiddwa kyokka n’ayongerako nti, yabaddeko n’obulwadde obulala obwabadde bumuluma