Amawulire

Ab’e Kawaala basabye KCCA ebakolere enguudo 3

ABATUUZE b’e Kawaala mu Lubaga basabye KCCA okubakol era enguudo 3 eziri mu kitundu kyabwe zituukane n’omutindo.

Wasajja (ku ddyo) ng’aliko by’ategeeza Kigenyi bwe baabadde e Kawaala ku Lwomukaaga.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

ABATUUZE b’e Kawaala mu Lubaga basabye KCCA okubakol era enguudo 3 eziri mu kitundu kyabwe zituukane n’omutindo.

Peter Tamale :  Tusaba munisipaali ya  Lubaga ne Kawempe  zikwatagane oluguudo lwa Kawaala  Link lukolebwe olwo  n’endala nazo  zifiibweko.

Peter Tamale : Tusaba munisipaali ya Lubaga ne Kawempe zikwatagane oluguudo lwa Kawaala Link lukolebwe olwo n’endala nazo zifiibweko.

Bagamba nti, mu Kawaala mulimu enguudo ssatu ze basaba KCCA eyiwe kkoolasi kuba zikozesebwa abantu bangi ate nga zigatta ku nguudo endala okuli; Kawaala Link oluva ku Kataka okutuuka e Bwaise ne ku kkanisa ya Pasita Aloysius Bujingo, olwa Mugema ne Bawalakata.

Kkansala w’ekitundu kino Eddie Wassajja Ggulu yagambye nti, KCCA yabasuubiza okukola enguudo naddala olwa Kawaala Link okuva mu 2011 kyokka n’okutuusa kati terukolebwanga so ng’abantu bangi balukozesa. “Okuva mu 2011, baatusuubiza nti, oluguudo luno n’endala zaakukolebwa naye n’okutuusakati tewali kyakoleddwa.

Fatuma Nansubuga  Muguluma: Mu  Kawaala tulina  enguudo ssatu ze  twalaga zikolebwe  kuba za mugaso nga  mu kiseera kino ziri  mu mbeera mbi.

Fatuma Nansubuga Muguluma: Mu Kawaala tulina enguudo ssatu ze twalaga zikolebwe kuba za mugaso nga mu kiseera kino ziri mu mbeera mbi.

Twebuuza ekigenda mu maaso so nga bwe ziba zikoleddwa zigonjoola bingi omuli okukendeeza akalippagano,” Wassajja bwe agambye.

Yagambye nti, waliwo obugayaavu mu kukola enguudo z’ettaka naddala eziva mu munisipaali emu okudda mu ndala nga olwa Kawaala Link kuba luno lugatta ku Kawempe kuba tezifiibwako.

Amyuka akulira KCCA, Benon Kigenyi yagumizza abatuuze b’e Kawaala nti, enguudo mu kitundu kino zigenda kukolebwa mu mbalirira ya 2026-2027 kuba baali bateeseteese okuzikola mu mbalirira eno eneetera okuggwaako. Yagambye nti, Kawaala

Link lwa mugaso kuba lugatta Kawaala ne Bwaise nga baakulukola lutuukane n’omutindo nga baakutindira omwala gwa Kiwuunya - Lubigi.

Charles Ssentumbwe : KCCA etuyambe  etukolere oluguudo  oluva ku Kataka ne lugatta ku Bwaise kuba  abantu bangi abalukozesa ate lusala ku  kalippagano.

Charles Ssentumbwe : KCCA etuyambe etukolere oluguudo oluva ku Kataka ne lugatta ku Bwaise kuba abantu bangi abalukozesa ate lusala ku kalippagano.

Yasabye abatuuze okukuuma obuyonjo nga tebasuula kasasiro mu mifulejje kuba gijjakuzibikira. Yabasabye kasasiro bamukung’aanyize mu biveera, kkampuni emutwale okusinga okumuyiwa mu bifo ebikyamu.

Akulira ebyobulamu mu KCCA, Dr. Sarah Zalwango yasabye abatuuze okukuuma obuyonjon’okumanya ebintu bye balya gye biva kuba waliwo abafumbira mubifo ebicaafu. Yakubirizza Banna kampala okusimba emiti bakuume obutonde n’okufuna empewo ennungi nga ne KCCA bw’efubye okukola ekyavuddeko n’ekitongole kya NEMA okubawa engule.

Tags: