Abaana babiri bafiiridde mu muliro ogukutte ennyumba mwe babadde basula e Kawempe.
Kitegeezeddwa nti nnyina w'abaana bombi, abadde agenzeeko ku maduuka nti n'alagira ow'emyaka omunaana okugenda akoleeze omusubbaawa olw'amasannyalaze okugenda era kirowoozebwa okuba nga gwe guvuddeko omuliro.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Owoyesigyire, agambye nti abazinyamooto we batuukidde, ng'abaana bamaze okufa nga n'ennyumba wamu n'ebintu ebibaddemu, bisirisse.
Agasseeko nti emirambo, gitwaliddwa mu ggwanika ly'eddwaaliro e Mulago, ng'okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.