POLIISI e Kamuli, ekutte abantu babiri okuli ne ssentebe wa LC1, ku bigambibwa nti beenyigidde mu bubbi bw'ente ssatu.
Kigambibwa nti bano bombi, poliisi ebakwatidde ku kyalo Busikina mu ggombolola y'e Butansi nga balina ente ssatu ezigambibwa okuba enzibe nga bazitambuliza ku tipper Isuzu nnamba UBM 457 M akawungeezi.
Kino kiddiridde baliraanwa babiri ku kyalo Nakimegere mu muluka gw'e Kitayunjwa , okuli Fazil Lubale 27 ne Swabaha Ngobi 35 , okuloopa ku poliisi omusango gw'okubabbako ente era poliisi y'e Kitayunjwa n'entandikirawo omuyiggo.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga North, Samson Lubega, agambye nti ente ezizuuliddwa , z'ezo ezaabadde zibbiddwa era ng'abakwate bombi, bali mu kaduukulu ng'ekiseera kyonna, baakusimbibwa mu kkooti ku misango gy'obubbi.