Amawulire

Abasuubuzi bafiiriddwa emmaali ya bukadde mu muliro ogukutte sitoowa z'ebintu e Kyankwanzi

Omuliro gubadde mu zzooni ya Church e Bukwiri ward e Butemba Town Council mu disitulikiti y'e Kyankwanzi.

Abasuubuzi bafiiriddwa emmaali ya bukadde mu muliro ogukutte sitoowa z'ebintu e Kyankwanzi
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Ebintu by'abasuubuzi ebibalirirwa mu bukadde bw'ensimbi, bitokomokedde mu muliro ogukutte sitoowa n'obuyumba mwe batundira ebintu e Kyankwanzi.

Omuliro gubadde mu zzooni ya Church e Bukwiri ward e Butemba Town Council mu disitulikiti y'e Kyankwanzi.

Gwokezza obuyumba obuwerako obukozesebwa ng'amaduuka ne sitoowa mwe babadde batereka ebyamaguzi era nga kisuubirwa guvudde ku ssigiri egambibwa okuba nga yalekeddwa mu kamu ku buyumba buno.

Omwogezi wa poliisi mu Wamala, Lameck Kigozi, akubirizza abantu okubeera abeEgendereza ennyo n'omuliro, naddala mu kiseera kino ekyomusana.

Tags:
Basuubuzi
Muliro
Sitoowa
Bintu
Mmaali
Bukadde