Amawulire

3 bakwatiddwa ku by'okugula essimu enzibe mu Kampala

Abantu basatu abagambibwa okubeera emabega w'okugula essimu enzibe mu Kampala, bakwatiddwa.

3 bakwatiddwa ku by'okugula essimu enzibe mu Kampala
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Abantu basatu abagambibwa okubeera emabega w'okugula essimu enzibe mu Kampala, bakwatiddwa.

 

Mu kikwekweto ekikoleddwa, poliisi ezudde essimu ezigambibwa okuba enzibe 143 nga zonna kika kya iphone.

 

Abakwatiddwa, kuliko Derrick Tumusiime nga yeeyita Gana, Fabrice Niyonzima amanyiddwa nga Sadat ne Emmy Kitoko.

 

Kitegeezeddwa nti abakwatiddwa be bamu ku bagula essimu enzibe ne bazikyusakyusa serial nnamba n'okuziggyamu looko olwo ne baziguza abantu abalala naddala mu mawanga omuli Congo ne Rwanda.

 

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Owoyesigyire, agambye nti essimu 20, bannyini zo bamaze okubazuula, okusinziira ku misango egizze giroopebwa. Ayongeddeko nti ebikwekweto, bikyagenda mu maaso.

Tags:
Kampala
Ssimu
Kugula
Kukwata